• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Ssaabawolereza Kiryowa agamba Uganda terina bifo mwetulugunyiza bantu

Gambuuze by Gambuuze
November 10, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Ssaabawolereza Kiryowa agamba Uganda terina bifo mwetulugunyiza bantu
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Ssaabawolereza wa Uganda, Kiryowa Kiwanuka ategeezezza nti gavumenti terina bifo byekusifu mwetulugunyiza bantu era eno si nkola ya  gavumenti mwawerereza.

Kiwanuka bino abyogeredde mu kakiiko k’ekibiina kya mawanga amagatte akabuuliriza ku kulinyirira eddembe ly’obuntu n’okutulugunya abantu oluyindira e Geneva mu Switzerland.

Akakiiko kano katandika okunoonyereza ku nsonga zino nga October 31  era nga kekeneenya amaanyi gavumenti ya Uganda awamu n’ensi endala ttaano gegataddemu okulwanyisa okutulugunya bannansi wamu n’okulinyirira eddembe lyabwe.

Kino kiddiridde Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi okusaba ebitongola n’amawanga g’ebweru omuli ne UN okubaako kyebakola ku kuwamba abawagizi be awamu n’okubatulugunya ebikolebwa gavumenti.

Bw’abadde alabiseeko eri akakiiko k’ amawanga amagatte awolerezza gavumenti nga bwetalina buduukulu mwetulugunyiza bantu wadde okubasibira.

“ Gavumenti yaffe terina buduukulu buno oba ebifo ebitali mu mateeka mwetulugunyiza abantu. Bwetukomawo wamu enkya ngenda kubawa alipoota eyakolebwa ababaka ba Palamenti oluvannyuma lw’okulambula ebifo bino ebyogerwako kuba tewali kyebazuula,” Kiwanuka bw’ agambye.

Kiryowa Kiwanuka agamba nti ebikolwa by’okutulugunya abantu bwebibeera nga kituufu bikolebwa, bya bantu Ssekinoomu era bakola ku lwabwe so si kulwa gavumenti.

Munnamateeka Kiwanuka akakasizza akakiiko kano nga gavumenti ya Uganda bweri eneetegefu okulaba nti ebikolwa by’okutulugunya abantu biggwawo mu ggwanga era abo abakola ebikolwa bino bakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.

Bino webijjidde nga abakulembeze ba NUP bakyagenda mu maaso okulumiriza gavumenti nga bwewamba abawagizi babwe awamu n’okubatulugunya nga bangi basibiddwa mu bifo ebitamanyiddwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist