
Ssaabawolereza Christopher Bwanika y’omu ku baweereza b’Obwakabaka abamaze ebbanga eriwera nga baweereza Nnamulondo butereevu mu biti ebyenjawulo. Olwa leero awayizzaamu ne Pauline Nanyonjo kwebyo ebimufudde ow’enjawulo mu kisaawe ky’ amateeka awamu n’ebirala byakola okugaziya ennyingiza anti atega ogumu taliira.
Ekibuuzo: Oweek. Nsanyuse okulaba era nsaba otegeeze omusomi wa Gambuuze, amannya go wamu n’olugendo lwo olw’okusoma lutandika lutya?
Ssaabawolereza : Erinnya nze Christipher Bwanika nga ndi munnamateeka omutendeke eyazaalibwa mu maka g’ Omugenzi Ssaabakaaki Musa Kiseke Bwanika n’omukyala Syson Namusisi Bwanika ab’e Mende Busiro.
Emisomo gyange egyasooka nagikwatira ku Sseguku Primary School mu 1968-1974, mu Siniya negatta ku Kibuli Senior wakati wa 1975-1978 era nenfuna ebbaluwa ekakasa nti malirizza siniya ey’okuna. Mu 1979-1980 negatta ku Kololo High School gyenafunira ebbaluwa yange eya Siniya ey’omukaaga era nayita bulungi kubanga nze omu ku bayizi enkaaga(60) abaweebwa omukisa okusoma amateeka e Makerere era nga ye ssettendekero yekka eyaliwo ebiseera ebyo wakati wa 1981-1984.
Bwemala amateeka e Makerere neeyunga ku ‘Law Development Centre’(LDC) gyenamala omwaka mulamba 1984-1985 era olwo nensobola okujjuza ddiguli yange ey’ amateeka.
Mu 2004-2005 neyunga ku Queen Mary and West Field College mu University of London okusoma ddiguli ey’okubiri (Masters’Degree) ate mu 2006 nali mu University of Cologne e Germany gyenayongera okusoma nenfuna Satifikeeti mu ‘International Commercial Arbitration’ ate mu 2007 neyongerayo ku Oxford University wansi wa Keble College gye nafuna Dipuloma mu ‘International Commercial Arbitration’.
Mu 2007 nafuuka memba wa ‘Chartered Institute of Arbitrators in United Kingdom’ olwo ate mu 2008 nafuuka ‘Fellow’ eyasooka mu Uganda mu ‘Chartered Institute of Arbitrators’ era ekyo kyayongera ku linnya lyange nga ngattako (FCIArb) bwentyo nezintowa.
Oyogedde ku kubeera mutabani wa Ssaabakaaki, Obuweereza bw’ Embuga buva eyo?
Owek. Bwanika: Mu maka g’omugenzi Musa Bwanika mwetwakulira nze ne Baganda bange gaali gamanyi bulungi Obwakabaka era kitange yasoma ne Ssekabaka Muteesa II e Buddo era twakulira nnyo mulubiri kuba taata yali Ssaabakaki ate ne mukyala we maama yali mwana w’omutaka Katonya e Ssesse eranze okwagala okuweereza Kabaka nakuyonka buyonsi.
Ekibuuzo: Wali oyise bulungi era walina eddembe okusoma ekirala kyonna, lwaki walonda mateeka?
Ssaabawolereza Bwanika: Ekyansikiriza okusoma amateeka ye yali mukulu wange Joshua Kiwanuka Bwanika eyakolanga ne munnamateeka omugundiivu Henry Kayondo era namwegomba nnyo olw’obugezi bwe okuva mu ssomero era abantu abasinga bamunfaananya nnyo okuva ku njogera okutuuka ku mpandiika naye ekibi yattibwa amasasi mu kibuga wakati nga Museveni yakamala okulayira.
Olw’okuba nga yali afudde mu kampuni ye ey’ amateeka mwalabikamu eddibu nga naakamala bweti okusoma era bwentyo nenzira mu kifo kye.
Nafuna omukisa omulala kubanga ettendekero lya LDC lyansigaza nga omu ku basomesa abato (Lecturer).
Ekibuuzo : Abangi abasinga bagamba nti mu mbeera zonna nga mulimu ne kkooti, osigala oli mukakkamu era oyogeza ssimbo, kino okiggya wa?
Oweek Bwanika: Kyenyinza okugamba nti mu maka ga Musa Bwanika ne mukyala we Omumbejja we Namusisi baali bantu ba mpisa era maama wange yali mukyala mukambwe naye nga yayigiriza abaana be empisa n’okuba abeetowaze era batusomesa nnyo nti bwoba omwetowaze enzigi nnyingi zikuggulirwawo era kino kyelabiddeko mu lugendo lwange.
Bannamateeka tebatusuubira nnyo kuba beetowaze kuba oluusi tuba namalala olwo bumanyi mu mateeka. Naye nze amaanyi ngalaga wekyetaagisiza naddala mu kkooti naye awalala sikozesa maanyi.
Ekibuuzo: Tubuulire ku kkampuni ya Kalenge, Bwanika and Kisubi Company Advocates?
Eno kampuni yange ne bannange abalala babiri, era kati eweza emyaka 34 kati nga twagitandika ne mukwano gwange ate munna mateeka Steven Mubiru Kalenge nga esajjakudde nezaala n’endala nga zi ‘Legal Mark’ nga bannamateeka bangi abayise mu mikono gyaffe wamu n’abalamuzi nga Justice Lydia Mugambe.
Okusooka twali babiri naye oluvannyuma tugenze tweyungibwa abantu abalala. Okuggulawo ekitongole kyaffe kyava ku kusajjakula kwetwalaba nga tutuuseeko.
Okuva mu 1986 ndi munnamateeka omukukunavu mu kkooti zonna eze Uganda ate nga mu bbanga eryo nafunako n’okukkirizibwa okugenda okuwoza emisango mu kkooti ebweru okuli amawanga nga Tanzania, Botswana n’awalala.
Ekibuuzo: Twogere ku buweereza bwo eri Ssaabasajja Kabaka, obutandikira wa?
Owek. Bwanika: Okuweereza Kabaka natandika mu 1991 nga twayitibwa okugatta Ssemateeka wa Buganda nze ne bannange era okuva olwo sindanga mabega mu buweereza nebwenagenda emitala wa Mayanja okusoma bwenadda obukugu bwe nafuna nasooka bugesereza mbuga.
Nkoze mu bifo ebyenjawulo okuli; okuba ssentebe w’ akakiiko k’ amateeka mu lukiiko lwa Buganda, naliko Minisita omubeezi ow’Ebyobuwangwa ,minisiita omubeezi ow’ ebyamateeka, minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza wamu ne minisita wa Gavumenti ze bitundu ate oluvannyuma Ssaabasajja weyava okusiima mbeere Ssaabawolereza w’Obwakabaka.
Ekibuuzo: Wasalawo kuweereza Beene, Gavumenti Eyawakati nogyeerabira?
Ssaabawolereza Bwanika: Nedda ne gavumenti ya wakati ngikoleddemu ebbanga nga ndi mmemba ku bboodi z’ ebitongole ebyenjawulo nga kati ndi ku bboodi y’eddwaaliro lya Kiruddu nga nze nkulira akakiiko ka Finance era ndi muwabuzi mu byamateeka eri eddwaliro eryo, nakolako nga ‘consultant’ wa minisitule y’Ebyensimbi ku nkola z’okukozesa omutimbagano era naliko omusomesa e Makerere ku ‘LDC’.
Ekibuuzo: Nga okyali minisita wa Gavumenti eze bitundu ki kyosinga okwenyumirizamu kye watuuka kko?
Owek. Bwanika : Mu Minisitule eyo nali nkola n’Oweek Joseph Kawuki era twasobola okuteekateeka Abaami ba Ssaabasajja netubatendeka amateeka kwebasobola okutambuliza emirimu kuba bwebatambulira obulungi mu mateeka beewala akabaate oba enjega eyinza okugwira Buganda so twalina okubanyweza mu buweereza.
N’olwekyo okukola mu Gavumenti ez’ebitundu kyampa omukisa okubunyisa enjiri y’ amateeka ate n’okulaba nga obuwereza obwo bwongezebwayo. Twazzaawo enkola ey’ebitawuluzi ku buli Ssaza nga ku nkiiko kuliko bannamateeeka abatendeke ate era n’ebwenavaayo enkola ezisinga zenasaawo zisigadde zitambula.
Ekibuuzo: Emisango mingi egiwanguddwa woofiisi gy’okulira, obuwanguzi buno musobola mutya okubutukako?
Okusookera ddala obwagazi bwetulina eri Kabaka waffe nga ttiimu era awo neebaza Ssaabasajja okutuwa ekitugatta okuba nga ye Kitaffe, atuwa essuubi ekituyamba okukola ngatetwetirira mu mirimu negisobola okugguka.
Tulina enkola endala nga ttiimu gyetukozesa nga tutuula netuteseganya era netunoonyereza ku ngeri gyetuyinza okuwangulamu emisango gyetulina ku mmeeza awo amaanyi go’buwanguzi negaba mukweteekateeka.
Ekibuuzo: Wali wenyiyiddwako obuweereza era kiki ekyavaako embeera, Era wakola otya okwezza engulu?
Owek. Bwanika : Ng’omuntu bwenkugamba nti ssenyiwangako mba nimbye era ekyandetera embeera eyo yali ttiimu gyenali mpereeza nayo nga enjiyeeyo olw’okubulwa obwasseruganda mu mirimu gyetwali tukola.
Naye nze nga bwendi omutabaganya ate sigeya era mu mbeera yonna tutuula era netuteereza ebyo ebigaanye oluusi nenkangavvula ate byonna bwebigaana netwawukana kuba nali njawukanye n’abamu ku bawereza banange.
Ekibuuzo : Ng’ ovudde ku mirimu gy’ emisaala, Okola ki ekirala okugaziya ku nningiza?
Nina esomero lyenatandikawo ne mukyala wange omugenzi eriyitibwa Stena Hill School nga lya pulayimale wamu ne Siniya nga liri Lukuli Nanganda. Ekirala twatandikawo ku ddiiro lye mmere ‘woteeri’ naye lyanemerera olw’okubulwa akadde ekifo n’enkipangisa Abawalabu.
Ekibuuzo: Oluvannyuma lw’okuvibwako maama, ofubye otya okusigala nga otambuza obulamu ne mirimu gyemwatandikawo ababiri?
Owek. Bwanika : Ekinyambye be baana baffe abatandekeredde ate nebankuuma awaka nesiwuubala omanyi bw’owuubala ofuna ebirowozo naye nze nkyabeera nabaana bange kye kinyambye okutwala obulamu mu maaso.
Ekibuuzo: Nga tusemberera amazaalibwa ga Ssaabasajja ag’ emyaka 70, olinawo ku bubaka bw’Omutanda?
Owek. Bwanika : Ssaabasajja Kabaka essanyu lyaffe era essanyu lya Buganda nkuyozayoza okutuuka ku mazaalibwa go age myaka 70 era kkula ddene era kyabuwanguzi kyamaanyi okusinzira ku byafaayo nti Kabaka Mutebi II ye Kabaka asoose okuweza emyaka gino era twongera okusaba Mukama okumutukumira amwongere ebirungi bingi ku mulembe gwe.
Ekibuuzo: Nsaba otuwe obubaka bwo obusembayo?
Ssaabawolereza Bwanika : Abantu ba Buganda tunywerere nnyo ku Ssaabasajja Kabaka nga tetumutirira nga twenyigira mu nteekateeka zonna zatutegekedde nga tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe.