
Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabawolereza wa Buganda era Minisita avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, Owek. Christopher Bwanika asabye abaami ba Kabaka abakulembera ebitundu ebyenjawulo, okufaayo bannyikize enteekateeka z’Obwakabaka era bayambeko okutuusa amawulire amatuufu ku bantu ba Kabaka basobole okunywerera ku mulamwa.
Okusaba kuno Owek. Bwanika yakukoledde mu Bulange ng’atikkula Oluwalo lwa bukadde bwa Siringi 32 ku Lwokubiri okuva mu bantu ba Kabaka okuva e Ssese, Kooki n’essaza ly’e New York mu America.
Owek. Bwanika yasabye abaami okulwanyisa amawulire amakyamu agabungeesebwa ku nteekateeka z’Obwakabaka awamu n’ebigenda mu maaso kubanga gaggya abantu ku mulamwa n’okuteekawo obunkenke obuteetaagisa.
Mu ngeri yeemu akubirizza abazadde mu kiseera kino ng’amasomero tegannaggulwawo okubatambulizaako amaaso baleme okuva ku mulamwa kuba ebiriwo biraga nti buli lunaku abaana lwe bamala awaka bongera okwonooneka kuba ebiseera bya Buganda eby’omu maaso biyimiridde ku bo.
Ate ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki yafalaasidde abaami ba Kabaka bulijjo okuweereza n’obuvumu wadde nga waliwo ebibasoomooza mu ntambuza y’emirimu gyabwe naye n’abagumya bulijjo okunywerera ku Ssaabasajja Kabaka.
Bo abaakulembeddemu okuleeta Oluwalo luno bannyonnyodde nga bwe batagenda kuttira muntu yenna ku liiso singa banaakizuula nti ekigendererwa kye kya kuzza Buganda mabega oba okutabangula enteekateeka za Beene.
Mu kukiika Embuga, abaami bano baawerekeddwako abakulembeze mu gavumenti eyaawakati era bano baaweze okuteeka ensonga za Buganda ku mwanjo ne basaba gavumenti ya Kabaka okwongera okubakwasizaako, ebitundu byabwe bisobole okukulaakulana.
Ku mukolo gwe gumu, abassese baakiise Embuga n’Amakula ga bukadde busatu era gatikkuddwa Katikkiro w’Ebyalo bya Ssaabasajja, Omuk. Moses Luutu era yabeebazizza olwokufangayo okutuukiriza ennono yaabwe kubanga bwe bumu ku buvunaanyizibwa bwabwe.









