
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Asiimye n’aweereza obubaka eri Abataka Abakulu Ab’Obusolya mu Lukiiko olw’enjawulo olutudde mu Bulange e Mmengo era obubaka bwe busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.Obubaka bwa Kabaka bwe buno mu bujjuvu.
Tubeebaza obuweereza bwe mulina, n’okusingira ddala okukulembera n’okukunaakuma bazzukulu bammwe, okukuuma empisa n’ennono ebitusobozesezza okusigala obumu n’okuvvuunuka ebizibu byonna ebiba bitwolekedde.
Twandyagadde nnyo okubeera nammwe, naye abasawo bakyatukugidde okukola emirimu egimu. Kyokka tulina essuubi nti, mu bbanga ttono erijja, tujja kusobola okubasisinkana n’okuddamu okukakkalabya emirimu gyaffe.
Nga bwe mulaba, buli nkulaakulana ebeerawo ejja n’okusoomoozebwa okw’amaanyi my byenfuna, embeera zaffe eza bulijjo wamu ne mu byobufuzi. Okuwangula kwaffe okutusobozesezza ebbanga lyonna era okunaatusobozesa okwaŋŋanga okusoomoozebwa kwonna kuli mu kubeera abavumu okunyweza obumu, okuwuliziganya n’okwongera amaanyi mu kwagazisa abavubuka baffe Ebika byabwe, empisa n’ennono zaffe. Abavubuka baffe tulina okwongera okwogera okubasomesa n’okubajjukiza ensonga zino;
1. Ebyafaayo by’Obwakabaka bwaffe n’obukulu bwabyo mu nkulaakulana n’okunyweza Obumu n’ebyomuwendo bye tukkiririzaamu ng’Obwakabaka. Ebyafaayo bitukubira ekifaananyi ku bintu Obwakabaka bye buyiseemu, engeri gye butebuse emiziziko egitali gimu. Kino kijja kuyamba abavubuka baffe okumanya ensobi ezituteeka mu binnya n’engeri y’okuzeewala oba okuzivvuunuka.
2. Obukulu obuli mu bika byaffe n’entegeka yaabyo: Eno nsonga nkulu gye muteekwa okukuutira bazzukulu bammwe. Ebika, mpagi nkulu nnyo okunyweza Obwakabaka n’okumanya nti, Ebika byazimbibwa ku nnono. Ssaabasajja Kabaka gwe mutwe omukulu era ye Ssaabataka. Ensonga zonna ezikolebwa mu bika, entikko yaazo ye Kabaka. Ekirungi, Kabaka nga Ssaabataka yateekawo Olukiiko lw’Abataka n’awa obuvunaanyizibwa omu ku bataka okukubiriza enkiiko, singa Kabaka taliiwo. Entegeka eno etambudde bulungi. Wano tetulema kwebaza Omutaka Nnamwama olw’okukubiriza obulungi. Nammwe tubeebaza obujjumbize.
Tubasaba okwongera amaanyi mu nteekateeka ze mubanzeewo ez’okukulaakulanya Ebika byammwe ne bazzukulu bammwe. Naffe tujja kubakwatizaako mu ngeri ez’enjawulo. Waliwo ne bazzukulu bammwe bangi abalina emirimu egy’enkizo egitumbudde Obwakabaka ne Uganda yonna. Bano temubaleka mabega. Mubaagazise emirimu gy’Ebika era mulambule n’emirimu gye bakola kisobozese okubazzaamu amaanyi.
Nga bwe mumamyi, buli nkulaakulana ejja n’ebyayo ate eteekawo okuvuganya mu buli kintu. Embeera eno yeetaga abantu abayivu era ababanguddwa mu misomo egy’enjawulo. Twongera okubakubiriza okusomesa ennyo abaana bammwe abalikwatira Ebika omumuli nga muvudde mu Nsi nga mubakuutira obumu n’okukulaakulanya olulimi n’empisa zaffe.
N’ekisembayo, bwe bukulembeze mu Bika. Obuweereza obulungi n’obujjumbize bwa bazzukulu bammwe ku mirimu gy’Ebika kuwanirirwa engeri obukulembeze gye buzimbiddwamu. N’olwekyo, tubasaba okutereeza obukulembeze mu Bika era buli mukulembeze amanye obuvunaanyizibwa bwe. Ebika ebinaatereeza ensonga eno bigitereeze nga bijjuza enkiiko eziddukanya emirimu gy’Ekika. Ebika ebitalina ba Katikkiro bibalonde. Kino kijja kuwewula ku mirimu n’obuvunangizibwa obungi bwe mulina nga Abataka Abakulu Ab’Obusolya. Era tubasaba enkiiko zino, muzitwanjulire nga mumaze okuzironda.
Tubaagaliza obuweereza obulungi.
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.









