
Bya Ssemakula John
Masaka – Buddu
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’ayita mukitongole kye eky’e Nkuluze adduukiridde abaliko obulemu mu ssaza lye Buddu n’ettu lya Ssekukkulu nabo basobole okweyagalira mu nnaku enkulu ezisembedde nga abantu abalala.
Ettu ly’Omutanda lyanjuddwa omukwanaganya w’emirimu mu Nkuluze, Omukungu Simon Senkaayi ng’ono alambuludde ebibawereddwa.
Nnyinimu abakuutidde beelabirire bulungi era bayambeko ku nteekateeka z’Obwakabaka ezokuyambako ku kulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya era bakyekuume.
Ccuucu wano abaagaliza ennaku enkulu ennungi awamu n’omwaka omuggya ogw’emirembe.
kululwe, Simon Ssenkaayi asabye abaliko obulemu okukomya okwekubagiza era beettanire ebibiina by’obweggasi basobole okwekulaakulanya nga batandika n’ensimbi entonotono.
Omwami w’essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke akubiriza abaliko obulemu okubeera abakozi, era abayonjo nga kino kyakubayambako abantu obutabekanasa.
Ppookino era awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okusosowaza nokuyamba abaliko obulemu nga batutteyo ensonga zaabwe ez’enjawulo.
Ono era yenyamidde olw’embuga ye ssaza okubanga terina kabuyonjo zanguyira baliko obulemu n’abakadde Kyokka nasubiza ng’embeera eno bwegenda okuterezeebwa mubwangu bwatyo nasaba abazirakisa okubakwatirako ku nsonga eno.

Amyuka atwala ekitongole ky’abaliko obulemu mu ssaza lye Buddu Bbaale Mudashiru ategezeeza nti enjawulo nnene mu mbeera z’abaliko obulemu okuva maaso-moogi lweyabakwatako nga kati basobola okwebezaawo n’abo mumaka gaabwe nga n’abasinga ku bbo benyigidde mubulimi bw’emwaanyi.
Bbo abaliko obulemu ab’enjawulo basiimye Ssaabasajja olw’okubaddukirira bayite bulungi mu nnaku enkulu.
Mubintu ebiwereddwaayo Ssaabasajja Kabaka mulimu Omuceere, Sukaali, Sabuuni ,akawunga , omunnyo , Buto nekalonda omulala nga bino byakubayamba okuyita mugandaalo lya Ssekukulu nga beyagala.









