
Bya Shafik Miiro
Bombo – Bulemeezi
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye omulimu ogukoleddwa Kkangaawo Omulangira Ronald Mulongo okutumbula ebyenjigiriza mu Buganda ne Uganda.
Obubaka buno Nnyinimu abutisse Nnaalinnya Victoria Nkinzi gwatumye okuggulawo ekizimbe ekibbuddwa mu Mutanda ku ssomero lya St. Peter’s SS Bombo Kalule ku Lwokutaano.

Omuteregga akubirizza abaana, abazadde n’abaddukanya amasomero okusoosowaza ebyenjigiriza by’agambye nti mpagi nkulu nnyo eyeesigamizibwako enkulaakulana y’Ensi n’abantu baayo, era nga y’ensonga lwaki Obwakabaka bubisaako nnyo essira.
“Twebaza nnyo Oweekitiibwa Ronald Mulondo, Kangaawo, atadde amaanyi mu kaweefube w’okutwala ebyenjigiriza mu maaso. Omumuli ogwakoleezebwa ekitongole ky’Obwakabaka ekya CBS FM ekya kulonda nga Omuzira mu Bazira 2009, aguweesezza ekitiibwa, ettaka eryamuweebwa ng’awangudde alikulaakulanyizza bulungi” Kabaka Mutebi bw’ ategeezezza.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo gwe gumu yeebazizza Nnaalinya Nkinzi olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa Kabaka bwe yamutumye n’aggulawo ekizimbe n’atuusa n’Obubaka bwe, mu ngeri y’emu akulisizza Omulangira Mulondo olw’okufuna omukisa Nnyinimu n’asiima ekizimbe ekigguddwawo ne kibbulwamu erinnya lye.
Katikkiro naye akikaatiriza nti okuva edda nga Obwakabaka nga busoosoowaza nnyo era abantu baasomeranga mu bisaakaate, mu maka, ku byoto n’awalala, kyokka oluvannyuma era Ssekabaka Muteesa I yaleeta ebyenjigiriza ebisingawo mu Uganda bwe yayita abasomesa abantu be basobole okufuna tekinologiya ajjira mu kusoma kw’omukibiina. Ayongeddeko nti mu buufu buno ne Kabaka Mutebi II mw’atambulidde era ebyenjigiriza abikutteko nnyo ng’agatandikawo amasomero n’okuweerera abaana abeetaga okubeerwa.
Kamalabyonna atenderezza omutindo gw’ekizimbe ekigguddwawo era n’akikaatiriza nti Buganda okudda ku ntikko abantu balina okukola ebintu eby’omutindo obutamala gakola sambalasambala.
Minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ye asabye Abakulira amasomero agenjawulo okusosowaza olulimi oluganda masomero ge bakulembera gongere okulunyikiza mu baana, ng’agamba nti ebibala byalwo birabwako nga Omwami wa Kabaka Omulundo eyafuna omusingi gw’Obuwanguzi bwe okuyita mu lulimi.

Omulangira Ronald Mulondo Kangaawo nga ye mutandisi w’essomero lino yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima n’amuwa ettaka erimuyambye okugatta ettofaali ku nkulaakulana ye ggwanga ng’ayita mu byenjigiriza. Amwebazizza nnyo olw’okubawa erinnya lye libbulwe mu kizimbe ky’abayizi aba ‘A Level’ era asoomoozezza abayizi okutwala kino nga kikulu ddala nga beebuuza nti olemwa otya okuyita nga osomera mu kizimbe Kya Kabaka.
Ku mukolo guno wabaddewo okusimba emiti 70 ng’akabonero ak’okujaguza emyaka 70 egya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Omukolo gwetabiddwako Bannaalinnya, Abalangira n’Abambejja, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita ba Kabaka, Abataka Abakulu Ab’Obusolya, Abaami b’Amasaza, Bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka, Abakulembeze okuva mu Gavumenti eyawakati n’abantu abalala.