• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda ng’atongoza empaka z’Ebika

Gambuuze by Gambuuze
May 19, 2022
in Amawulire, Ebyemizzanyo
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda ng’atongoza empaka z’Ebika
0
SHARES
56
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo empaka z’Ebika bya Buganda, nga 28th May 2022, ku kisaawe kya Kasana – Luweero mu Bulemeezi.

Bino byogeddwa Minista w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Okwewummuzaamu Owek. Henry Sekabembe Kiberu ku Lwokuna e Bulange- Mengo

“Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda nga 28,  omwezi guno ogw’ okutaano, omwaka guno gwennyini mu ssaza lye erye Bulemeezi e Kasana Luweero nga aggulawo empaka z’ebika z’omwaka guno, ttiimu ezigenda okuggulawo tujja kuzibategeeza mu bwangu ddala nga tumaze okwetegereza ensonga eziwerako,” Owek. Ssekabembe bw’agambye.

Okusinziira ku Ssekabembe, empaka zino zigenda kutegekebwa mu bbago eppya eryavudde mu kunoonyereza okwakoleddwa akakiiko akaweebwa omulimu gw’okuzza ekitiibwa, ettutumu n’omutindo gw’ empaka zino akakulirwa Kabugo Julius.

Owek. Ssekabembe agambye nti ebika 30 byebimaze okwewandiisa mu nteekateeka eno era wabaddewo ensisinkano n’enkiiko eziwerako okuddabulula ekikopo kino.

Ono annyonnyodde  obukulu bw’ekikopo kino nategeeza nti kye kyokka ekyetabwamu bazzukulu na Nambi okuviira ddala ku bukulembeze waggulu okutuuka wansi ku bazannyi.

Minisita Ssekabembe akunze abantu ba Buganda yonna gyebali okuvaayo okuwagira enteekateeka eno era bakomye okunenya n’okwekubagiza basobole okuzzaawo ekitiibwa n’ettutumu ly’ ekikopo kino nga bwekyali mu myaka gya 90.

Owek. Henry Sekabembe Kiberu, era ategezeza nti Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, esiimye nekolamu enkyukakyuka mu  lukiiko  olugenda okuddukanya empaka zino, era neyebaza nyoo  bonna ababaddeko kuba baweerereza mu kiseera ekijjudde okusomoozebwa.

Kati olukiiko olupya lukulirwa Ssentebe, Katambala Hajji Sulaiman Magala, omumyuka we Asooka ye Hajji Jamir Ssewanyana ng’ono avunaanyizibwa ku mipiira ogw’ebigere, Omumyuka ow’okubiri, Dr. Sarah Nkonge ng’ono avunaanyizibwa ku mupiira gw’engalo oba okubaka.

Omuwandiisi w’olukiiko ye Gerald Katamba ate Omuwanika ye Micheal Nsereko, avunaanyizibwa ku bannamikago n’abavujirizi ye Rebecca Nassuna, Clive Kyazze ne James Ntambi bavunaanyizibwa ku mawulire ate Manisur Kabugo wa kikugu mu mupiira gw’ ebigere ate Kaala Rose wa kubaka.

Minisita Ssekabembe agamba nti emyaka egisoose 3, Abataka bagenda kukiikirira naye mu maaso awo baveeko era ng’omukiise w’abataka ye  Nakigoye Nabimba ate alina okulondoola buli kimu okuteekebwa mu nkola ye Julius Kabugo olwo Catherine Nakigudde akiikirire abakyala.

Share this:

Tags: Bika CupKabaka Ronadl Muwenda MutebiSsekabembe Kiberu
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.