![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/WhatsApp-Image-2025-01-28-at-3.02.49-AM-1024x683.jpeg)
Bya Gerald Mulindwa
Kyengera – Busiro
Ssaabasajja yebaziza ekitongole kye ekya Kabaka foundation olw’enteekateeka ya Tubeere balamu gyagambye nti ekoze bulungi nnyo abantu be okubatuusaako obujjanjabi mu bitundu gye babeera.
Ajjukiza abantu nga enteekateeka eno bweyatandikira e Buddu ku mbuga ya Pookino ku ntandikwa ya Museenene w’omwaka oguwedde, abantu baali bangi nnyo abajjumbira olusiisira olwo era tewali kubuusabuusa nti bangi baaganyulwa. Yebaziza abasawo ne bannamikago bonna abatambula n,enteekateeka eno egenderera okutumbula ebyobulamu bwabantu b
Beene agamba nti ku mulundi guno olusiisira luno lukubiddwa mu ggombolola Ssaabagabo Nsangi okuliraana e kibuga wetumanyi nti waliwo obwetaavu bungi mu by’obujjanjabi.
Omutanda asiimye nnyo Ssaabasumba Paul Ssemogerere ne MSGR Lawrence Kanyike Bwanamukulu wa St. Joseph’s Parish Kyengera olw’okwenyigira obutereevu mu nteekateka zino n’okuwayo ekifo awajjanjabiddwa abantu be.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/WhatsApp-Image-2025-01-28-at-3.02.46-AM-1024x683.jpeg)
Mu ngeri ey’enjawulo Ssaabasajja yeebazizza Supreme mufti Sheikh Muhammad Galabuzi, Rt Rev. Moses Banja, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi ne bannaddiini bonna olw’okuwagira enteekateeka za Kabaka Foundation mu kaweefube w’okukyusa obulamu bw’abantu be. Era yeebazizza Ababiikira be Bwanda naddala Nnankulu olw’obuyambi obuweereddwayo mu by’eddagala n’obusawo.
Bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo be bakulembeddemu enteekateeka eno okuli; Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere, Omulabirizi we Namirembe Moses Banja, Super Supreme Mufti Sheikh Shaban Galabuzi, Fr. John Bbosa Kibuuka kulw’enzikiriza y’Abasodokisi, era baliko obubaka bwe bawadde naddala obujjukiza Gavumenti okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo okulabirira abantu baayo nga balamu bulungi nga ezimba amalwaliro mu bitundu ebibeetoolodde, wamu n’okukendeeza ku nsimbi ezigula ebintu ebikozesebwa mu by’obulamu.
Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ategeezeza nti kaweefube w’okuwa abantu obujjanjabi asimbye mu buufu bw’ensonga ssemasonga ey’okuna, eraga okukola obutaweera omuli okusitula omutindo gw’embeera z’abantu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo, bwatyo yeebazizza Kabaka Foundation okulima olubimbi luno okulaba nti abantu ba Beene bafuna obujjanjabi okutereeza obulamu bwabwe.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/WhatsApp-Image-2025-01-28-at-3.02.53-AM-1024x683.jpeg)
Asabye abantu balye bulungi, beegemese endwadde, bakole dduyiro kibasobozese okwekuuma nga balamu