
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aweereza obubaka mu kuggulawo ttabamiruka wa Buganda mu Buwalabu asookedde ddala era obubaka bwe busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Omutanda nga yesigama ku mulamwa gwa ttabamiruka ono ogugamba nti “Ebyokuyiga ku mawanga nga tuluubirira enkulaakulana” akubirizza abantu be okubaako bye bayiga ku mawanga okusobola okugatta ku nkulaakulana y’Ensi yaabwe.
“Ensi ezo ze mwasengamu /gye mukolera, zaatuuka ku nkulaakulana ng’abakulembeze n’abantu baazo bakikoleredde, tekyajja nga mukisa. N’olwekyo, tusaba abantu baffe mwenna, okufuba okulaba nti ng’oggyeko okufuna ensimbi, mubeeko bye muyigira ku mawanga gye mukolera n’abantu baayo ebinaabayamba okwekulaakulanya ng’abantu ssekinnoomu n’okukuza Obwakabaka bwaffe, ssaako Ensi yaffe Uganda, okutwaliza awamu”
Omuteregga ayongeddeko nti “Kisaana kitegeerekeke bulungi nti Ensi yaffe nnungi ddala era yeegombesa, ensonga yonna eyinza okuggya omuntu ewaffe okusenga ku mawanga kuba kuluubirira kweggya mu nvuba ya bwavu ng’aluubirira okwekulaakulanya”
Ssaabataka aliko n’entanda endala gy’asibiridde abantu be mu bubaka bwe;
“Abantu ba Buganda ffenna ffe bamu, nga tetunuulidde wa gye tubeera n’ebyo bye twawukanya mu mbeera zaffe okugeza eddiini, ebyobufuzi, ebyenfuna, obuyigirize n’ebirala. N’olwekyo kikulu nnyo okutuulako awamu ne twogera ku nsonga zaffe ezitukwatako, ssaako okuzitegeera obulungi.”
“Twebaza abo bonna abawagira enteekateeka za Gavumenti ya Kabaka, ze tubatuusaako entakera ssaako n’okumanyisa abantu baffe enteekateeka ez’enjawulo ezitambula mu Bwakabaka n’emirimu egikolebwa.”
“Tukubiriza abantu baffe mwenna bulijjo obutaganyanga muntu n’omu kubawabya n’abaggya ku mulamwa gw’okutambulira awamu ng’abaana b’enda emu. Ne bwetuba ne bye tutakkaanyako ffenna wamu, tusaana okutuula wansi mu buntubulamu ne tubiteesaako, era ne tukkaanya ku binaatuyamba ffenna ate n’okukuza Buganda.“
Omutanda mu bubaka bwe buno agguddewo ttabamiruka wa Buganda Bumu Arab and Asia Convention (BBAACO) era n’ategeeza nti eno ntandikwa nnungi. Yebazizza omubaka wa Kabaka mu Buwalabu Owek. Sheikh Abbas Nsubuga, Abamyuka be abatuula ku nkiiko ez’enjawulo ssaako n’akakiiko akateeseteese ttabamiruka ono.
“Tubeebaza okutusabiranga bulijjo ate era tubasiima olw’obuteerabira buwangwa na nnono zaffe, wadde nga muli bunaayira” Kabaka Mutebi II.









