
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emisinde gy’okujaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 68 gakwatibwe oluvannyuma lw’okukuza Amazaalibwa.
Ekyama kino kibikuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna nga atongoza akajoozi k’omwaka guno era nategeeza nti gyakuddukirwa wansi w’omulamwa gw’okulwanyisa Mukenenya ng’abaami be basaale, okutaasa abaana ab’obuwala.
“Mu nkola eya bulijjo emisinde gibeerawo ku Ssande ekulembera olunaku lw’ Amazaalibwa naye nga bwemunanya sabiiti ekulembera amazaalibwa ga Kabaka ya wiiki ntukuvu, waliwo amazuukira, Paasika, Amatabi n’ennaku endala enkulu n’olwekyo bwetunamala okukuza amazaalibwa nga 13/04/2023ate nga 16 ku Ssande eddako tudduke,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti olunaku lwe 13 April lukulu nnyo mu Buganda kubanga Kabaka Ronald Muwenda II lweyazaalibwa mu ddwaliro e Mulago era Mujaguzo yavuga wadde nga kitaawe Ssekabaka Edward Muteesa II yali awang’angusiddwa.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga amazaalibwa gano gayamba okunyweza essiga ely’olulyo Olulangira, Abaami awamu n’Ebika bwatyo neyeebaza Katonda olw’ obulamu bwawadde Nnyinimu.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’omumyuka wa ssentebe w’olukiiko lw’ Amazaalibwa gano, yeeyamye okukola omulimu omulungi ogunaggyayo ekigendererwa kya Ssaabasajja.

Ssenkulu wa kkampuni y’essimu eya Airtel abavujjirizi abakulu ab’emisinde gino, Manoj yeeyanzizza Beene okusiima nebamuweereza mu ngeri eno gyagambye nti nabo ebayambye okutumbula omukutu gwabwe mu Uganda.
Ye akulira Majestic Brands Omuk. Remmy Kisaakye agambye nti omukago Obwakabaka gwebwatta ne Airtel guvuddemu ebibala ebirabwako n’asuubiza okugukuuma.
Guno gwe mulundi ogw’ekumi ng’ emisinde gino gitegekebwa wansi w’emiramwa egy’enjawulo omubadde okulwanyisa Fistula (Ekikulukuto,) Sickle cells (Nnalubiri) ne Mukenenya nga byonna bigendereddwamu okutumbula eby’obulamu n’embeera z’abantu ba Kabaka.
Emijoozi ku luno gigula emitwalo 2 mu kiseera kino nga kati gisangibwa ku maduuka ga Airtel ku: Ben Kiwanuka; Ppaaka empya; Shoprite, ne ku Bulange. Ebifo ebirala bijja kubategeezebwa.
Enteekateeka y’emisinde ekulirwa Oweek. Prof. Twaha K. Kaawaase, n’evujjirirwa Airtel Uganda; Vision Group; BBS Terefayina; CBS FM n’abalala.









