
Ssaabaminisita w’eggwanga lya Bungereza Boris Johnson olwaleero ategeezezza ensi nti naye senyiga omukambwe owa Coronavirus amanyiddwa ennyo nga COVID-19 naye yabadde amuyodde.
Olwaleero, Johnson agambye nti eggulo yabadde ayokerera wamu n’okuba ne senyiga ekyareetedde omusawo we okumulagira yeekebeze.
Wabula ebyavudde mu kwekeebeza byalaze nti on yabadde ayooloddwa.
“Yadde nfunye ekirwadde kino, ngenda genda mumaaso nga nkulira gavumenti mu kaweefube w’okulwanyisa Coronavirus,” Johnson bweyagmbye.
Ono wakubeera mu maka gw’obwa Ssabaminita ku 10 Downing Street mu kibuga ekikulu London nga ajjanjjabwa era singa kino kigaana, minisita avunanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala Dominic Raab, etteeka gwerikkiriza okuddira Jonson mu bigere.
Johnson si ye munene mu ggwanga lya Bungereza yekka asoose okuzuulibwa n’akawuka kano.
Ku ntandikwa ya wiiki eno, amawulire gaategeeza nti omulangira alindiridde okutwala entebe ya Bungereza, Charles naye alina kolona.
Ono naye abeera waka wajjamjjabibwa.