
Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabaminisita wa Uganda, Robinah Nabbanja atabukidde abakulu mu Minisitule y’ebyobulimi n’abasaba okutuusa empeereza eri bannansi era bakomye n’okusiibanga mu misomo egyabuli kadde nga tewali kyanjawulo kye bawa bannansi.
Nabbanja abawadde amagezi okusoosowaza empeereza eri abantu mu myaka gino etaano kuba bye bimu ku biruubirirwa Pulezidenti Museveni bye yasuubiza bannayuganda nga alayira.
“Mulina kukyusa bulamu bwa balimi so si obwammwe ng’abakozi ba Minisitule. Eby’okusaasaanya ssente z’omuwi w’omusolo ku misomo egitaggwa birina okukoma.” Nabbanja bw’agambye.
Bino Nabbanja yabyogeredde mu kuggalawo omusomo gw’ennaku ettaano ogwategekeddwa Minisitule y’ebyobulimi nga gwayindidde ku National Leadership Institute e Kyankwanzi.
Okusinziira ku Nabbanja, ebiruma abalimi bimanyiddwa nga mu bino mulimu ebikozesebwa ebitali bya mutindo, ebbula ly’akatale, ebbula ly’amazzi awamu n’ebizibu ebirala nga kino kye kiseera bikolebweko, basobole okufuna mu mulimu gwabwe.
ono yabasabye okumanya nti balina okulondoola empeereza za gavumenti ez’enjawulo okukakasa nti bannansi bafuna ekyo kyennyini ekibagwanidde.
“Omuntu yenna agula oba ayambako okugula ensigo ez’ebicupuli, ebigimusa oba eddagala, abeera azzizza musango era tasaana kubeera mukozi wa gavumenti. Tulina okulwanyisa obulyi bw’enguzi n’abo abavumaganya gavumenti.” Nabbanja bwe yagambye.









