
Bya Ssemakula John
Balintuma – Mmengo
Ssaabalangira Godfrey Musanje asabye abavubuka mu lulyo Olulangira okunyweza obumu kibayambe okugenda mu maaso.
Obubaka buno Ssaabalangira Musanje yabuweeredde ku Kigango e Balintuma mu Mmengo ku Ssande bweyabadde ayogerera mu Ttabamiruka w’Abavubuka b’Olulyo Olulangira.
Ssaabalangira Musanje abavubuka bano abakubiriza okukolera awamu n’okwewala okutwalibwa ebyogerwa abatamannyangamba abeenonnyeza ebyabwe kuba bano bagendereddemu ku baggya ku mulamwa.
Musanje era asabye abantu okuddamu okwetegereza enkuza y’omwana enung’amu okusobola okubakuza obulungi okuteekerateekera eggwanga abakulembeze abatuukiridde.

Ye akulira Omuluka gwa Gomotoka, Augustine Musanje akunze abavubuka bulijjo okufaayo okwetaba mu nteekateeka ezisibwayo ba jjajja bwe nga mukino olulyo olulangira bwerujja okwongera okugumira nabo okusobola okulaakulana beegobeko obwavu.
Omuyima w’Abavubuka mu lulyo Olulangira, Omulangira Golooba Wilberforce wano awadde abakulembeze amagezi okufaayo okwebuuza kubabasingako n’abalina obumanyirivu nga baweereza kibayambeko okugussa obulungi obuweereza bwabwe era batuukirize ebigendererwa byabwe.
Abavubuka bano babanguddwa ku bintu ebyenjawulo okuli obukulembeze, enneeyisa, empisa, emirimu n’ebirala.
Kinajjukirwa nti abavubuka abava mu lulyo Olulangira mulimu abalangira, abambejja, basaava ne bannaava nga bano bakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri gyebasobola okwekulaakulanyamu.