
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ssaabalamuzi w’eggwanga, Alfonse Owiny- Dollo akiise embuga leero ku Lwokuna nga bweyasuubiza nawaayo okwetonda kwe eri Obwakabaka ku bigambo ebyensimattu byeyayogerera mu lumbe lw’eyali Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah, ng’ono yagamba nti Beene bweyali agenda okujjanjabwa mu Bugirimaani yakozesa nnyonyi ya bwapulezidenti ekitali kituufu.
Omulamuzi Dollo okujja embuga abadde awerekeddwako bannaddiini okuva mu kibiina ekitaba enzikiriza ez’enjawulo wano mu Ggwanga ki Inter-Religious Council okubadde Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu, omusumba Lwere, Ssaabalabirizi Kakembo, Sheikh Sserwadda n’abakungu mu kitongole ekiramuzi nga ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abakungu ba Buganda abalala.
Bano basoose mu kafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire era oluvannyuma boogeddeko eri bannamawulire nebawera okutwala mu maaso enkolagana era ebiyise byerabirwe kubanga mu kiseera webyayogererwa kaali kaseera kakusoberwa oluvannyuma lw’okufa kwa Sipiika Oulanyah.

“Njagala okwebaza Ssaabalamuzi olw’obuvumu, emirundi mingi tusobya mu byetukola, mu nneeyisa yaffe oba mu byetwogera naye sikyabulijjo omuntu okuvaayo nagamba nti bannange nasobeza, nakitegedde era tekyabadde kirungi. Kyetaaga obuvumu bungi okukola ekyo era Ssebo tukwebaza okubeera omusajja omuvumu,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Mayiga annyonnyodde nti obwetowaze tebulaga bunafu era bulimu amaanyi mangi bwatyo namusiima olw’okusalawo okulaba ng’obutakkaanya buno bugonjoolwa.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti Ssaabalamuzi embuga azze nga wa mukwano naye kati agenze nga waluganda ekikakasa nti omukwano guva mu ngabo.
Ono asabye bannayuganda okwerabira byonna ebibadde byogerwa era basigale nga bassa ekitiibwa mu mugenzi Jacob Oulanyah ku lw’abaana be n’enju ye era beewale okwogera ebiyinza okwennyisa abantu emitima.
Mu kwogerakwe Ssaabalamuzi Owiny Dollo yeetonze era neyeebaza Katikkiro Mayiga olw’okumuwa omukisa namusisinkana era neboogerezeganya, nebabaako n’okukaanya kwebatuukako wakati mu kwerabira ebyo ebibadde bibaawudde nebateeka essira kwebyo ebirina okubatwala mu maaso.
Owiny-Dollo agamba nti aganyuddwa kinene mu nsisinkano eno nalaga nti azze mu mirembe era avuddewo akimanyi nti ayongedde okukwatagana ne Buganda.
Asiimye Kamalabyonna olw’okwolesa amagezi, obuntubulamu n’okubeera muzzaȠȠanda bweyali ayogera ku kufa kwa Oulanyah n’okulambika ku nnyonyi y’ekika kya KLM, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi gyeyakozesa okugenda e Bugirimaani.
Ssaabalamuzi Dollo asabye wabeewo okusonyiwagana n’okwogerezeganya mu bannayuganda nga walabiseewo obutakaanya kubanga embeera eno yeesobola okutwala eggwanga mu maaso.









