Bya Ssemakula John
Kampala
Abakulira essiga eddamuzi mu ggwanga, basabye bannaddiini okubaloopera abalamuzi abalya enguzi era babaweereko n’obujulizi, kibayambe okulwanyisa omuze guno oguttattanye ekifaananyi ky’essiga lino.

Ssaabalamuzi Alfonse Chigamoy Owiny-Dollo, ye yakoze okusaba kuno bwe yabadde asisinkanye ekibiina ekitaba enzikiriza ekya Inter-Religious Council of Uganda (IRCU) ku Mmande, n’ategeeza nti okulumiriza kwe baafuna tekubaako bujulizi.
“Tusaba mwe abaweereza ba Katonda okubeera amaaso n’amatu gaffe ebweru eyo mu bantu. Tujja kubaako bye tutuukako ng’abantu, singa abantu nga mmwe, mutuwa amawulire amatuufu ku balamuzi abalya enguzi,” Ssaabalamuzi Owiny Dollo bwe yagambye.
Okusaba kuno kuddiridde akulira abalamuzi, Dr. Flavian Zeija, okusaba bannaddiini okuloopa abakoze b’ekitongole ekiramuzi abalya enguzi wamu n’obujulizi obubaloopa bakolebweko.
Bannaddiini bano baabadde bakulembeddwamu; Mufti Shaban Ramadhan Mubajje, Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, Dr. Daniel Matte, Dr. Joseph Sserwadda ne Bisoopu Joshua Lwere ne Ssaabawandiisi IRCU, Charles Kasibante.
Bano baatenderezza bannaddiini olw’omulimu gwe bakoze ng’okutumbula tekinologiya ayambye okwanguya emirimu mu ssiga lino, okusigala nga bawa abantu obwenkanya mu kiseera kya Ssennyiga Corona awamu n’ebirala.
Baasabye essiga okukola ku nsonga y’enguzi naddala ng’omuntu aweebwa akakalu ka kkooti, okukozesa obubi obuyinza, abalamuzi okuwulira emisango gye batalinaako buyinza, okukandaaliriza emisango wamu n’abalamuzi abamu okubulwa obuntubulamu.
“Abalamuzi abamu tebatya kusaba nguzi era nga bakozesa bakiraaka ba kkooti okugisaba,” Mufti Shaban Mubajje bwe yannyonnyodde.
Ssaabalamuzi abasabye okuwaayo olukalala lw’abalamuzi abalya enguzi wamu n’emisango egikandaaliridde wamu ne kye balowooza ekivuddeko kino.
Bannaddiini baasuubizza okukolaganira awamu n’essiga eddamuzi okulaba nga bamalawo ekizibu ky’emisango okulwawo okuwulirwa.
Ssaabalamuzi Owiny-Dollo yagambye nti basuubira okutendeka bannaddiini ku ngeri gye basobola okutabaganyaamu abantu, kiyambeko emisango egimu obutagenda mu kkooti.
Bano bakkiriziganyiza okusisinkana buli luvannyuma lw’akaseera okulaba engeri enteekateeka y’okukendeeza ku misango bw’etambula kubanga si buli musango nti gwetaaga kugenda mu maaso ga Mulamuzi.








