Musasi waffe
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omulonde Dr Steven Kazimba Mugalu, agambye Bannayuganda balina okwagalana n’ewankubadde nga baawukanya endowooza mu by’obufuzi n’amawanga. Bweyabadde ku mukolo gw’okuggulawo ekkanisa y’omutukuvu Lukka e Bulera Ssingo eyazimbiddwa munna Rotary era omukungu wa Kabaka Emmanuel Katongole, Kazimba yagambye nti eggwanga terisobola kugenda mumaaso nga abantu tebaagalana.“Uganda erimu abantu abalabika nti baagalana yadde babibiina byanjawulo. Abeesimbyewo mwagalane, abantu bebajja okuwa obululu bagambe nti ono yasinze nga naye mwe temwevumye. Nga Ssaabalabirizi omulonde, nsaba mwe abalonzi obutavuma bakulembeze.
Tulina ekizibu mu ggwanga lino nga n’abaana abato bavuma. Ensi bweggwamu ekitiibwa ng’eggwanga lifudde. Oba by’abufuzi oba by’amawanga tubisse kubbali okwagala kwa Katonda kukulembere byonna,” Kazimba bweyategeezezza. Yagasseeko nti Katonda yatonda abantu mu mawanga, mukikula, ne mu madiini ag’enjawulo basobole okwagalana. “Abantu tebakyayagala ggwanga lyabwe, bwolaba ebintu ebikolebwa, engeri abantu gyebalyamu enguzi biraga nti tebakyayagala ggwanga lyabwe. Omuntu yeefaako yekka nebamuwa ssente ezikola ku ddwaliro n’azeebulizaamu nga ne jjajjawe ajja kulwala.”
Omukolo guno era gwetabiddwamu Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga eyabadde omugenyi omukulu. Mu bubakabwe, Mayiga yasabye abantu batwale ekyokulabirako kya Katongole obuteerabira gyebaava. “Nkulisa Banna Bulera olw’okufuna ekkanisa eno ewundiddwa obulungi. Sikyabulijjo okufuna essinzizo nga lino mu bitundu ebye kyalo nga eno n’olwekyo muli baamukisa nti ekitundu kyammwe kivaamu abantu ab’obuvunanyizibwa ate abajjukira,” Mayiga bweyagambye. Wabula yabasabye omulimu guno bagutwale mumaaso baleme gulekera Katongole ne banne. “Yadde mufunye ababayambyeko okuzimba ekkanisa eno, musaana okumanya nti guno omulimu ggwammwe sigwa Katongole. Musaana okulabirira n’okukuza ekitundu kyammwe. Twafuna omuze mu Uganda ogwa Gavumenti etuyambe, n’omuntu kyasobola okwekolera alinda bamuyambe,” Mayiga bweyagambye. Omukolo gwetabiddwako; Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki, abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannabyabufuzi, n’abantu abalala bangi.