Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu atabukidde abanene mubitongole bya gavumenti abalemedde ku kunyaga ettaka ly’ abantu awamu n’okusindikiriza abanaku.
Obubaka buno Ssaabalabirizi abuweeredde mukusabira eyali Ssaabawolereza wa gavumenti eyawakati Peter Nyombi ku Africana awamu n’okutongoza akatabo akalimu ebyafaayo bye nga kawandiikiddwa mutabani we Solomon Ignatius Nyombi.
Kazimba ayogedde ku Nyombi nga omuntu eyakolerera ennyo emirembe era buli lukya yali ayagala nnyo okuteesa okusinga ebintu ebirala byonna.
“ Yali muntumulamu nnyo era buli lukya yagambanga nti abantu be awamu n’ abanaku bafuna obulamu obulungi,” Kazimba Mugalu bwe yagambye.
Kazimba avumiridde ekibbattaka ekisusse nga kati bano batwaliramu ettaka lye kkanisa awamu n’ettaka ly’ abanaku neyeewunya bano obugagga gyebabutwala.
Omubaka wa Uganda e Dubai, Henry Mayega yayogedde ku Nyombi nga omuntu omwesimbu, era ayimirirwako ensonga. Mutabani wa Nyombi, Solomon Ignatius Nyombi era eyakulembeddemu omulimu gw’okuwandiika ebyafaayo bya Nyombi ategeezezza nti bakufuba okusangulawo obulimba obwamuteekebwako era bamanyise ensi ku mukululuo kitaabwe gweyaleka.
“Waliwo ebintu ku kitange ensi byetamanya. Teyayagala kwanukula bintu byali bimwogerwako mu mawulire naye buli lwebyajjanga yafukamiranga nasaba. Era yagendanga e Nakasongola okulaba abantu bakiikirira, awulirize ebizibu by’ abantu be.
Ono annyonnyodde nti omulimu gw’okuwandiika ekitabo kino yagutandika kitaabwe akyali mulamu okutuuka lweyafa 2018.
Omugenzi Peter Nyombi yali munnamateeka era Ssaabawolereza. Yaliko omubaka wa Palamenti owa Buruuli mu disitulikiti ye Nakasongola era Cansala w’ Obulabirizi w’e Mityana.
Omukolo guno gwetabiddwako eyali Ssaabalamuzi Benjamin Odoki eyali Omulabirizi w’e Namirembe, Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira ne Rev. Canon Dr. John Senyonyi.