Bya Francis Ndugwa
Kampala
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu, asabye abantu mu ggwanga okukuuma emirembe naddala mu kaseera kano ak’okunoonya akalulu.
Bino Kazimba abitegeeezezza bannamawulire leero e Namirembe nga beetegekera olukung’aana lw’ Obulabirizi obw’enjawulo olwokubaawo ku Mmande ya Ssaabbiiti ejja.
“Abapoliisi twayogedde nabo baleme okukozesa amaanyi agasusse ate ne bannayuganda tubakubiriza bakomye ebintu eby’empisa embi ng’okwekalakaasa n’okubba abantu.” Ssaabalabirizi Kazimba bw’annyonnyodde.
Dr. Kazimba asabye wabeewo obwenkanya eri abeesimbyewo bonna mu ngeri gye basobola okutuuka ku bantu babawe endowooza zaabwe mu kifo ky’okuggyirako abamu leediyo ne ttiivi okubalemesa okutuuka ku bantu.
Kazimba agambye nti ng’eggwanga bannayuganda basobola bulungi okukuuma emirembe wakati mu kusoomoozebwa.
Ono asabye abakkiriza okuwaayo akaseera ka wiiki ennamba olukung’aana lwekagenda okumala okusabira eggwanga lisobole okuyita obulungi mu kkampeyini zino.
“Olukung’aana luno lugenda kumala wiiki nnamba era nsaba ebeere wiiki ya kusaba n’okusiiba eri abantu ba Katonda olwa kkampeyini ennungi n’okulwanyisa obusambattuko.” Dr. Kazimba bw’agambye.
Kino kiddiridde aba Inter-Religious Council of Uganda (IRCU) okusisinkana abakulu mu poliisi okutema empenda ku ngeri y’okunoonya akalulu kano gye kusobola okubeera okw’emirembe.
Ssaabalabirizi akunze bannayuganda okukuuma emirembe era bateeka ekitiibwa mu biragiro ebyateekebwawo okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Poliisi evuddeyo efunda eziwera n’eremesa omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu, Patrick Oboi Amuriat ne Gen. Henry Tumukunde ku bigambibwa nti bano babadde bamenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona.