![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/IMG-20241220-WA0052.jpg)
Obwakabaka bwa Buganda bulina enkola ey’okusiima n’okuwa omukozi alidde mu banne akendo mu nkola esiima omukozi w’omwaka era aweebwa n’ejjinja ery’omuwendo nga liteeekeddwako omukono Empologoma ng’ akabonero akongera okumwebaza.
Omuky. Juliet Nakayima ng’ono akolera mu woofisi ya Ssabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika yeyalya mu bawereza ye yafunye ekkula lino. Ono awayizzaamu n’omusasi waffe Pauline Nanyonjo namubbirako engeri gyeyasukkulumye ku baweereza abalala.
Okusoma kwe
Nakayima bwabeera anyumya olugendo lwe alutandikira ku Pearl Infant Nursery School ne Yudesi Primary school e Kazo gyeyatuulira eky’omusanvu. Mu sekendule yeegatta ku Mt of Olives College e Kakiri gyeyakolera Siniya ey’okuna ate Siniya ey’omukaaga nagikolera ku St. Mark’s College Namagoma.
Oluvannyuma yeyunga ku Ssetendekero wa Makerere University ku ttabi lya MUBS e Nakawa gye yakonola ddiguli mu Human Resource Management.
Yeegatta ku Bwakabaka
Okuyingira Obwakabaka yajja akyasoma era bweyanoonya wayinza okugezesebwa mwebyo byeyali asomye (Internship) yasalawo okusaba mu bitongole ebiwerako wabula naatafuna mukisa, mu kiseera nga asobeddwa waliwo eyamuwa amagezi asabe mu Bwakabaka era naye kyeyakola. Wano yawandiikira Omuwandiisi Ow’enkalakkalira era bwatyo naweebwa omukisa.
Bweyamaliriza okugezesebwa kuno (Internship) yasigala akyawuliziganya nabo beyali akola nabo wadde yali agguddewo edduuka era olumu nga ayitayo nabaako byayambako wadde enkola eno teyali ntongole.
Nga wayise akabanga omu ku mikwano gye yamuweereza ekifaananyi nga waliwo omulimu ogulangibwa era bwatyo naasaba omulimu ogwo oluvannyuma lw’okwebuuza ku bakadde anti yalina okusalawo singa afuna omukisa okujja aweereze Embuga oba asigale mu dduuka.
Nakayima yasunsulwa era omulimu naagufuna bwatyo nafuuka omuweereza wansi wa woofiisi y’Omuwandiisi ow’enkalakkalira gyeyaggyibwa natwalibwa awatuukirwa abagenyi (Reception).
Wano agamba yayigawo bingi kubanga ekifo kino kyamumanyisa abantu bangi mu Bwakabaka era naamanya n’engeri ensonga z’Embuga gyezitambulamu.
Nakayima yalaga obusobozi bwe kuba yali akwasaganya emirimu egiwerako era yatandika okuyambako abaweereza abalala nga akuba ebiwandiiko omwali neebyo ebiva mu woofiisi ya Ssaabawolereza ekola ku byamateeka, Nnabagereka Development Foundation, okukuba obulango n’ebirala bingi.
Waaliwo obwetaavu bw’okukyusa mu baweereza mu Bwakabaka era Nakayima y’omu kwabo abaggyibwa mu buvunaanyizibwa bwebaalina nebaweebwa obulala natwalibwa mu woofiisi ya Ssaabawolereza era nafuulibwa “Team Assistant” mu woofiisi eno nemu Buganda Royal Law Chambers.
Mu buvunaanyizibwa obupya, Nakayima agamba nti yeekwasa Katonda kuba yabaddenga empagi ye era wano nafuba okusosowaza emirimu gya Mukama we kwosa n’okukolagana obulungi n’ abantu abamwetolodde era kino kyamufuula ow’enjawulo.
Nakayima asunsulwa okuvaganya ku ngule ya 2024
Juliet agamba nti bweyafuna amawulire nti asunsuddwa mu bantu abanaavuganya ku ngule y’omukozi w’omwaka yalowooza nti bijja kukoma awo era teyakirowooza nti bakozi banne bayinza okumwesiga nebamulonda naye Katonda kyabeeredde emitendera gyonna yagiyitamu era nafuuka omuwanguzi.
Nakayima agamba nti buli muntu mu Bwakabaka ku kitundu ku buwanguzi buno, era kyali kya kitiibwa nnyo nga Katikkiro Charles Peter Mayiga amukwasa engule y’omukozi w’omwaka ku mukolo ogwaali mu bimuli bya Bulange omwezi oguwedde.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/jhyjkj.png)
Kati azzaako ki?
Omwaka 2025, Juliet Nakayima agutunuulidde n’ebiruubirirwa ebiwera agamba alina okukola obutaweera okusinga bweyakola mu mwaka 2024, ng’omukozi ow’amazima era ew’emmizi mu mirimu.
Akaama eri abaagala okuweereza Embuga
Juliet Nakayima agamba nti omuntu yenna okusobola okuweereza mu Bwakabaka alina okweyisa obulungi kuba wano empisa kikulu nnyo era zeezisobola okweyimirira kubanga tewaba kuttira ku liiso wadde okusosola.
Amaliriza obuwanguzi bwe abwesigamya ku bazadde be Omuky. Nambalirwa Esther Miwanda, Kitaawe Mw. Peter Miwanda wamu nebaganda be Andrew Miwanda, Namaganda Elizabeth, Bwebale Francis Joseph bagamba nti bamulambise bulungi nafuuka omuntu ow’enjawulo.