
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule akubiriza abantu ba Buganda okutambulira ku nsonga Ssemasonga kibayambe okubeera obumu era batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo.
Obubaka buno Owek. Mugumbule abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde atikkula Oluwalo olusobye mu bukadde 44 okuva mu Bannabusiro ne Bannamawokota.
Owek Mugumbule agamba nti ensonga y’okunyweza nokukuuma Nnamulondo buvunaanyizibwa bwa buli muntu nga bweguli mukukuuma ebyaffe n’okunyweza ensalo za Buganda nabakunga obutabusuulirira.
Ono akubirizza abantu ba Beene obuteetundako ttaka lyabwe wabula balikozesse okukyusa obulamu bwabwe nga bettanira okulima emmwaanyi emmere wamu n’okulunda olwo basobole okugoba obwavu.
Sipiika Mugumbule era asabye Abaami ba Kabaka okuva mu ggombolola ezenjawulo okufiisawo akadde bulijjo okusisinkana basanyuke baleme kulindanga kaseera kazibu okusobola okukwatagana n’okutabagana.
Mugumbule yeebazizza abantu ba Beene okuva mu Ssaza Busiro ne Mawokota abakiise embuga olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo.

Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza, ku lwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek Joseph Kawuki yeebazizza abakiise embuga olwaleero wabula neyeebaza ak’ensuso omwami w’eggombolola Mumyuka Wakiso omulundi guno olw’okusoosowaza bannaddiini mukukiika embuga.
Ono ategeezezza Katikkiro nga abantu mu ssaza Busiro ne Mawokota bwebali abawulize eri Nnamulondo era nabakunga okwongera okubeera abawulize wamu n’okugoberera okulungamizibwa kwa Katikkiro okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ye omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Mpigi Nambooze Teddy, yeebazizza Kamalabyonna olw’ enteekateeka y’ Emmwaanyi Terimba eyambye okuggya abantu mu bwavu nasuubizza okubaako baawa endokwa okwongera okuwagira omulimu guno.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu abakulembeze mu biti ebyenjawulo okubadde ababaka mu Palamenti, abakulembeze okuva mu gavumenti eyawakati, abakulembeze mu ddiini abeegwanyiza obukulembeze, abakulu b’amasomero abayizi saako nabalala bangi.