Musasi waffe
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda asabye abakiise b’olukiiko okusaasaanya engiri ku kwetangira Coronavirus eri abantu ba Kabaka.
Oweek. Patrick Luwagga Mugumbule agambye abakiise b’olukiiko balina okugamba abantu biki byebalina okukola okwetangira ekirwadde kya Coronavirus.
“Ssaabasajja Kabaka ayagala abantu abalamu kubanga amanyi g’eggwanga gabeera mu bantu abalamu,” Mugumbule bweyagambye.
Agambye nti buvunaanyizibwa bw’abaami ba Kabaka okubeera abasaale mu kulwanyisa ekirwadde kino okusobola okukuuma abantu ba Beene nga balamu.
Asabye abakiise okwekuuma era beewale okukyala wamu n’okukyaza abantu kubanga kino kiyinza okuviirako okusika obulwadde buno engeri gyebusaasaanyizibwa mu mpewo.
Agasseeko nti Olukiiko lwa Buganda olwayimiriziddwa lubadde lwa njawulo kubanga obukiiko bw’olukiiko obw’enjawulo bubadde bugenda kwanjula enteekateeka zaabwo.
Mu ngeri yeemu, Oweek Mugumbule akubirizza abazadde okufaayo ennyo ku Baana baabwe obutatambulatambula era bwekiba kisoboka babafunire ebintu ebiyinza okubakuumira awaka baleme kuwuubaala.