
Bya Ssemakula John
Palamenti
Sipiika Anita Among aweze omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti, Jackson Kafuuzi obutaddamu kuwabula Palamenti ku mateeka gonna agaleetebwa.
Entabwe evudde ku bbaluwa Kafuuzi gyeyawandiika eri Pulezidenti ng’agamba nti yakakibwa Palamenti okukkiriziganya nayo neeyisa ebbago ly’etteeka erikangavvula abantu abenyigira mu mukwano gw’abantu ab’ekikula ekimu erya Anti homosexuality Bill 2023.
Kigambibwa nti Kafuuzi nti yasooka kuwandiikira Pulezidenti Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni ebbaluwa ng’emulabula obutassa mukono ku bbago lino, nti oluvanyuma lw’okuzuula obuwaayiro obwenjawulo obwali bwetaaga okukolamu enongoosereza, era neyewakana okuwagira okuyisa ebbago lino ng’agamba nti yakakibwa.
Bwabadde aggulawo olutuula lwa Palamenti Sipiika Anitah Annet Among yennyamidde olw’ebigambo bya Kafuuzi, kyagambye nti ekikolwa kyeyakola kyakuweebuula Palamenti n’okugiryamu olukwe nga kino tayinza kukikkiriza.
Wano Among alagidde Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka okubeerangawo buli lwebanaabaako okuwabulwa kw’ amateeka kwebeetaaga okwewala ebikolwa nga bino okuddamu.
Ssaabawolereza Kiwanuka yeetonze olwa Kafuuzi wabula ababaka kino nebakigaana nga bagamba nti Kafuuzi yalina okwetikka omusaalaba ggwe.
Kafuuzi mu bigambo bye agambye nti byonna byeyakola yali atuukiriza buvunanyizibwa bwe, ekintu ekitanudde Sipiika okumulagira obutaddamu kubaako kuwabula kwonna kwawa Palamenti ng’agamba nti tayinza kukolagana namuntu alya mululime nemuluzise.
Oluvannyuma Kafuuzi ayogeddeko eri bannamawulire nategeeza nti Sipiika alina obuyinza okukola kino naye ajja kunoonyaayo akadde bongere ku butakkanya buno era amanye obutuufu bw’ensonga eno.
Kafuuzi era atangaanziza nti singa teyakola kuwabula kweyakola eri omukulembeze weggwanga okukomyawo ebbago lino ebbago lino lyandibaddemu ebituli bingi ekintu ekyali wadde abamenyi b’amateeka okwongera okwegiriisa.