Bya Ssemakula John
Kampala
Sipiika wa Palamenti, Anita Among asabye ababaka obutatya kulaga ludda nga akaseera k’okukuba akalulu ku tteeka erireeteddwa okulwanyisa omukwano gw’ebikukujju (Anti-homosexuality Bill 2023) katuuse nga balowooza nti singa baliwagira bajja kugaanibwa okugenda mu mawanga nga Amerika.
Okwogera bino Sipiika Kadaga abadde akubiriza Palamenti wakati nga ebbago lino liwulirwa mu Palamenti oluvannyuma lw’okufuna Satifikeeti eraga weriteeka ebyenfuna by’eggwanga okuva ewa Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija.
Sipiika Among annyonnyodde nti ebbago lino ddungi eri empisa z’ensi n’ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso nakakasa nti Palamenti weeri nnyo okukuuma ennono y’ obuntu ereme kusaanawo.
” Omulundi guno mugenda kutulaga oba mulaga omukwano gw’ebikukujju oba nedda,” Sipiika Among bw’ategeezezza ababaka bw’abadde alaga engeri gyebagenda okulondamu.
Sipiika Among agamba nti akaseera k’okulonda bwekanaaba katuuse, ababaka bagenda kuvaayo omu kwomu alonde ng’ ensi yonna eraba.
Bino webijjidde nga abantu ab’enjawulo olunwe balusonze mu bitongole bya amawanga g’ebweru okuba nti bebavujirira ebikolwa bino.
Kati singa etteeka lino liyita, omuntu yenna akwatibwa mu bikolwa bino oba eyeeyisa nga bbo wakusibwa emyaka egiwera 10 wabula tekimanyise bbanga nteekateeka eno lyegenda kumala.
Kinajjukirwa nti mu mwaka 2014, ababaka ba Palamenti bayisa etteeka erigaba ekibonerezo ky’omusibwa amayisa singa oli asangibwa mu bikolwa by’omukwano gw’ebikukujju wabula oluvannyuma kkooti etteeka lino yalisazaamu.