
Bya Ssemakula John
Kampala
Sipiika wa Palamenti, Anita Among alagidde akakiiko k’ensonga z’obwapulezidenti mu Palamenti okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abeezibika ebintu ebyalina okuyamba abanaku mu minisitule y’ensonga za Karamoja.
Kino kiddiridde abamu ku babaka abava mukitundu kino okusaba Sipiika wabeewo okunoonyereza ku ngeri ebintu ebyalina okuyambamu abantu gyebyagulibwamu awamu n’okugabibwa.
Bano nga beegattira mu kabondo kabwe aka ‘Karamoja Parliamentary Group’ balumiriza nti abakulu mu minisitule eno, okwegabira amabaati agawera 12000, embuzi, emmere ebyalina okuganyula abali bakoseddwa ennyo enjala n’obubbi bw’ente.
Ebimu ku bintu bigambibwa okusangibwa mu maka g’abooluganda lwa minisita wa Karamoja, Maria Gorrettu Kitutu egali e Namisindwa. Ebintu bino byalina kuweebwa amaka agenjawulo, ekkanisa, amasomero, emizikiti n’amalwaliro.
Ku bino Bukedea yafunako amabaati 500, Kajamaka Primary School mu ggombolola ye Kidongole neefuna 200, Kadacar Primary School mu ggombolola ye Kangole neeweebwa 150, ne Kalou Primary School e Kabarwa nefuna amabaati 150.
Kati Sipiika alagidde akakiiko okutunula mu nsonga zino era kakomewo ne alipoota mu wiiki 2 zokka.
Ekitundu kino ekye Karamoja emyaka esatu egiyise kibadde kibuutikiddwa obutabanguko n’enjala nga butwaliddemu n’obulamu bw’abantu era bangi bakyagenda mu maaso n’okufa.
Wano gavumenti yavaayo okuyambako embeera nga ekolagana ne bannamikago era wano bawaayo embalirira ya buwumbi 39 eyenyogereza okuyambako embeera era n’obuwumbi obulala 135 nebuweebwayo okugulamu emmere.
Ku buwumbi 39, 22 bwakozesdebwa okugula embuzi ate obuwumbi 5 nebukozesebwa okugula amabaati emitwalo 10 agalina okuweebwa abavubuka abaali baggyiddwako emmundu.
Ababaka bano bagamba okutuuka essaawa ya leero tewali muntu yenna wadde ettendekero erisobodde okufuna wadde ebbaati erimu.
Bano baagala Sipiika alagire minisita wa Karamoja Kitutu n’omubeezi we Agnes Nanutu badde ebbali kisobozese okunoonyereza okugenda mu maaso mu bwerufu era abo abeenyigidde mu bikolwa bino eby’obukulupya basobole okuvunaanibwa.









