Bya Musasi Waffe
Kampala
Minisitule y’ebyobulamu etegeezezza nti si kya buwaze okusooka okukeberwa ekirwadde kya COVID-19 nga tebannakkirizibwa kuddamu kusoma Ssabbiiti ejja.
Kigambibwa nti agamu ku masomero galiko ensimbi ze gaasabye abazadde okukebera abayizi Corona nga bakomawo okuddamu okusoma.
Akulira ebyobulamu mu Minisitule y’ebyobulamu, Dr. Henry Mwebesa agamba nti kino kikyamu kuba okukeberebwa si kye kimu ku bukwakkulizo obwateereddwawo okuggulawo.
“Minisitule y’ebyobulamu etegeeza abazadde nti okukebera abayizi okuddamu kusoma si kiragiro okuva mu kakiiko akalwanyisa COVID-19 mu ggwanga. Akakiiko kaatuula ne Minisitule y’ebyobulamu awamu n’ebyenjigiriza ne bateekawo ebiragiro naye eky’okusooka okukebera abayizi tekyalimu.” Mwebesa bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Minisitule y’ebyobulamu, ebiragiro ebyaweebwayo kuliko; okwambala masiki, okubeera n’obudagala bw’okunaaba mu ngalo awamu n’okwewa amabanga, bye/bimu ku byafulumizibwa.
Minisitule egamba nti bwe wanaabawo obwetaavu bw’okukebera abaana, bujja kukolebwa Minisitule y’ebyobulamu so si malwaliro ga bwannannyini wabula na kino tekinnateesebwako.
Bino we bijjidde ng’amasomero gagenda kuggulawo wiiki ejja era gavumenti yamaze dda okufulumya enteekateeka erambika ebibiina n’emitendera egy’enjawulo bwe gigenda okusomamu oluvannyuma lw’emyaka ebiri ng’ebyenjigiriza bitaataaganyizibwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.