Bya Ssemakula John
Kampala
Eyali Minisita ataliiko kifo kya nkalakkalira, Ricahrd Twodong, alondeddwa nga Ssaabawandiisi w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement(NRM).
Mu nkyukakyuka zino ezalangiriddwa Pulezidenti Museveni olunaku lw’eggulo, Twodong azze mu bigere bya Justine Kasule Lumumba eyalondeddwa ku bwa Minisita bwa guno na guli mu woofiisi ya Ssaabaminisita.
Mu ngeri y’emu, munnakibiina kya NRM Rose Namayanja abadde omuwanika w’ekibiina alondeddwa okubeera omumyuka wa Ssaabawandiisi.
Barbara Oundo Nekesa abadde Kamisona wa Uganda mu South Africa yakomezeddwawo ku butaka okudda okuwanika ensimbi z’ekibiina nga Namayanja bw’abadde akola.