Bya Musasi Waffe
Nairobi – Kenya
Eyavuganyiza ku bwapulezidenti mu Kenya wansi w’omukago gu Azimio La Umoja, Raila Odinga agaanye eby’okulagirira William Ruto ng’omuwanguzi w’ akalulu ka 2022 nakakasa nga bw’ agenda mu kkooti.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokubiri, Odinga agamba agenda mu kkooti okuwakanya ebyalangiriddwa kuba byabadde bikyamu.
Odinga alumiriza ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aka Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) Chairman Wafula Chebukati okuyisa olugaayu mu Ssemateeka nalangirira Ruto mu bukyamu.
“Kyetwalabye eggulo kwekumenya amateeka ga Kenya nga Wafula Chebukati nabamu ku bakamisona abatono. Emiwendo egyalangiriddwa Chebukati zabadde nfu era okusinziira ku ffe tetulina Pulezidenti mulonde,” Odinga bw’agambye.
Odinga agamba nti Chebukati yalaze obwanakyemalira bweyalangiridde obululu nga talina bakamisona bonna abatuula ku IEBC.
Okusinziira ku Odinga Chebukati yalemesezza bakamisona bonna okumanya nokulaba ebyo ebyabadde bigattibwa ebyenkomeredde.
Wabula Odinga asabye abawagizi be okusigala nga bakakkamu nga bwebakozesa amateeka okusazaamu ebyalangiriddwa Chebukati.
Odinga atendereza bakamisona abana aba IEBC okuli; Juliana Cherera, Irene Masit, Justus Nyang’anya ne Francis Wanderi abagaanye okwegatta kwabo ababadde e Bomas nga Chebukati alangirira ebintu byeyabadde amanyi obulungi nti bifu.
Kinajjukirwa nti Chebukati yalangiridde William Ruto eyafunye obululu 7,176,141 obwakoze ebintu 50.49 ku buli 100 ate Raila Odinga naafuna 6,942,930 obukola ebitundu 48.85 ku buli 100.
Ye David Mwaure owa Agano party yafunye 31,987 awamu ne George Wajackoyah eyafunye 61,969.