Bya Musasi Waffe
Chad
Pulezidenti wa Chad abadde yaakalondebwa ku kisanja ekyomukaaga, Idriss Déby Itno (68) afudde. Okusinziira ku magye ga Chad, Pulezidenti Idriss Deby afudde oluvannyuma lw’okufuna ebiwundu ebyamaanyi bwe yabadde akulembeddemu basajja be okulwanyisa abayeekera.
Bino we bijjidde ng’amagye ga Chad gali mu kwalagana n’abayeekera abagezaako okulumba ekibuga ekikulu N’Djamena. Omwogezi w’amagye, Gen. Azem Bermandoa Agouna, bw’abadde alangirira okufa kwa Deby ategeezezza nti ono okufa yabadde alwanirira ekitiibwa ky’eggwanga lye ku nsalo ya Chad n’eggwanga lya Libya.
Deby abadde yaakalondebwa ku kisanja ekyomukaaga mu kalulu akaabaddewo nga 11-April era abadde yaakamala mu buyinza emyaka 30 malamba oluvannyuma lw’okuwamba obuyinza mu 1990.
Okusinziira ku bibadde bisuubirwa okulangirirwa, Deby akalulu yakawangulidde ku bitundu 80 ku buli 100. W’osomera bino nga Palamenti ne gavumenti bisattuluddwa era ne walondebwawo akakiiko k’amagye akagenda okukulembera eggwanga lino okumala emyezi 18 n’oluvannyuma wategekebwewo okulonda.
Omukutu gwa AFP gutegeezezza nti bannamagye balonze mutabani we, General Mahamat Idriss Deby Itno, okudda mu bigere bya kitaawe ng’akulira akakiiko k’amagye akagenda okukulembera eggwanga eryo.