• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Pulezidenti Museveni okuva edda tayagala ttaka lya mayiro – Prof. Kanyeihamba

Gambuuze by Gambuuze
August 30, 2021
in Amawulire
0 0
0
Pulezidenti Museveni okuva edda tayagala ttaka lya mayiro – Prof. Kanyeihamba
0
SHARES
63
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Eyaliko Ssaabawolereza wa gavumenti era nga yaliko n’omulamuzi wa kkooti ensukkulumu, Prof. George Wilson Kanyeihamba ategeezezza nga Pulezidenti Museveni bw’atayagalangako nkola ya ttaka lya mayiro, wabula n’amuwa amagezi alyesonyiwe kuba lijja kusuula eggwanga mu mitawaana.

“Nali mu NRM Movement etaali kibiina kya byabufuzi naye abantu bonna baali bamanyi nti Museveni yali awagira enkola eyaawamu eya’ Communisim’ era ng’ayagala ettaka lyonna libeere lya gavumenti, naye ffe twakigaana mu CA era ne tugamba ettaka libeere lya bantu so si gavumenti,” Kanyeihamba bwe yagambye.

Omulamuzi Kanyeihamba agamba nti abatali baganda bangi batudde ku ttaka lya Buganda awatali kugobaganyizibwa muntu yenna.

“Wano we ndi ttaka lya mayiro era ttaka lya Ssaabasajja, muliraanwa wange ye muko wa Museveni, Odrek Rwabogo asulawo ne mukyala we Patience era ffenna tuli ku mayiro. Era tuli bamirembe era tuli ku ttaka lya mukama waffe Kabaka.” Omulamuzi Kanyeihamba bwe yategeezezza.

Ono yannyonnyodde nga mu bbanga ly’amaze ku nsi talabanga ggwanga lya mukwano era lisembeza bantu balala nga Buganda kuba  omu ku balirwana b’alina ye Omukama wa Tooro naye atudde entende ku ttaka lya Buganda.

Ku nkola ya mayiro okuzing’amya enkulaakulana, Omulamuzi Kanyeihamba agamba nti kino si kituufu kuba n’ettaka gavumenti ly’etutte nga yeefuula eyagala okulikulaakulanya, ate litwaliddwa bagagga n’emikwano gy’omukulembeze.

“Naye katugende ku ttaka gavumenti ly’erina tulabe ekikoleddwawo. Baagenda  mu Kampala okumpi ne Palamenti ne baggyawo essomero lya Shimoni Demonstration School naye kati ani aliwo? abantu baabulijjo bayinza okugendawo? Naye kati abasajja abagagga be balirina. Twalina obuyumba bwa poliisi e Nsambya, gavumenti n’erifuna n’eritwala naye kati baateekawo Ssemaduuka omunene ne wooteeri.” Omulamuzi Kanyeihamba bwe yagasseeko.

Omulamuzi Kanyeihamba yakakasizza nti ekituukawo ku ttaka gavumenti ly’ezze etwala kwe kuwa ettaka eri mikwano gya NRM, egya Pulezidenti era bano be baweebwa omukisa okukulaakulanya  ettaka lino era olumala abantu baabulijjo tebakkirizibwa wadde okusala mu bifo bino.

Kanyeihamba yasabye Pulezidenti Museveni akimanye nti bamuwabisa era mu ngeri eno  yeesonyiwe ettaka lino, ensi esobole okusigala awamu era ekulaakulane.

“Tewaliwo nsonga mbi yonna ku ttaka lya mayiro. Ate abantu abajagala si baganda bokka kubanga ekola, era Museveni alina okumanya nti abantu abangi abalina ettaka lya mayiro ate si baganda.” Omulamuzi  Kanyeihamba bwe yalambuludde.

Share this:

Tags: Buganda KingdomMailo LandMuseveniProf. KanyeihambaRwabwogo
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.