Bya Musasi Waffe
Kampala
Pulezidenti Yoweri Museveni era omudduumizi w’Amagye ow’okuntikko alagidde mutabani we era omudduumizi w’Amagye g’oku ttaka Lt Gen Muhoozi Kainerugaba ayimiriza ebikwekweto bya Operation Shujaa ebibadde bikolebwa eggye lya UPDF okufuuza abayeekera ba Allied Defence Forces (ADF).
Bino birangiridde Gen Muhoozi mu bubaka bwe bwatadde ku kibanja kye eky’omutimbagano gwa Twitter ku Lwokuna.
“Pulezidenti Museveni andagidde awamu n’eggye lya UPDF lyonna okuyimiriza ebikwekweto byaffe mu DRC! Tugenda kukola nga bwetulagiddwa era abajaasi baffe tebagenda kugenda mu maaso nabikwekweto bino okutuusa nga tufunye ebiragiro ebirala. Kati tulinze kiragiro kya ssentebe w’omukago gwa East Africa era avunaanyizibwa ku ggye lya East African Standby Force,” Muhoozi bw’ategeezezza.
Ebikwekweto bino ebyatuumwa “Operation Shujaa” bibadde bikolebwa eggye lya UPDF nerya Congo erimanyiddwa nga Armed Forces of the Democratic Republic of Congo (FADRC) nga byatandika omwezi oguwedde nga kati bibadde bimaze emyezi 6.
Kati bino biyimiriziddwa oluvannyuma lw’abalwanyi ba M23 okuwamba ekitundu ku nsalo ya Uganda ne Congo ekya Bunagana.
Kinajjukirwa nti Uganda yaweereza abajaasi 1700 mu bitundu bya North Kivu ne Ituri okusobola okufufugaza abayeekera ba ADF.
Eggye lya UPDF wamu ne FADRC era bebali ku mulimu gw’okuzimba enguudo mukitundu kye Mbau -Kamango, Mobili axes, Kamango -Semuliki-Beni.