Musasi waffe
Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Buddu Pookino Jude Muleke, asabye abantu ba Kabaka bonna gyebali okugondera ebiragiro ebyayisiddwa gavumenti ya wakati, ku kulwanyisa ekirwadde kya coronavirus ekimanyiddwa nga COVID-19.
Mu bubakabwe obuwandiike, Muleke agambye nti okusobola okulwanyisa ekirwadde ekizinze ensi yonna, buli muntu alina okukola kyateekeddwa okukola.
Obubaka mu bujjuvu
Bannabuddu mbalamusizza. Twebaza Katonda atukuumye mu mbeera eno ey’obulwadde bwa COVID-19 obubunye mu nsi yonna.
Tunyolerwa wamu ne bannaffe mu nsi yonna abafiiriddwa abantu abangi ennyo omuli Italy, China, German, Spain n’amawanga amalala.
Tusaasira nnyo ensi eziri mu Africa omuli ensi yaffe Uganda, Kenya, Tanzania n’endala nga nazo zifunye okusoomoozebwa olw’abantu abafunye ekirwadde kino okwo kwossa abafudde nga mu nsi eya South Africa.
Twebaza nnyo gavumenti ya Kabaka efubye ennyo okusomesa abantu okwetangira endwadde eno.
Mu ngeri yemu, twebaza nnyo gavumenti ya Uganda n’ekitongole ky’eby’obulamu mu ggwanga olw’amaanyi gebatadde mu kulwanyisa ekirwadde kino.
Nkowoola mwenna naddala bannabuddu, okugondera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga n’ennambika y’ekitongole ky’eby’obulamu mu ggwanga.
Munaabe mu ngalo ne ssabbuuni, mwewale okubeera mu bifo omuli abantu abangi, mwekuumire nnyo mu maka gammwe, mwewale okusaasanya ssente zammwe ku bintu eby’okwejalabya nga mwetegekera ekiseera ekijja mu maaso.
Emmere tugikekkereze, abatalina nga tusobola okubayamba tubayambe naye nga twegendereza.
Mbasaba nnyo mwewale ebibooziboozi ebimalamu abantu amanyi era tufube nnyo okuwuliriza amawulire agayita ku mikutu emituufu nga TV ne Radio eziri mu ggwanga n’ebweru era nga emikutu egyo gyesigika.
Abavuzi b’ebidduka nga Boda boda, mbasaba mugondere amateeka.
Twewale okukaayana nga tunenya gavumenti n’ebitongole ebirala.
Nsaba ffena tubeere kimu mu kulwanyisa obulwadde buno.
Mbasaba mwongere amanyi mu kwegayirira Katonda ajja kutuddiramu.
Mwekuume nnyo era temuggwamu ssuubi.
Katonda abakuume!