
Ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekimanyiddwa nga Kampala City Traders Association-KACITA kisabye abasuubuzi okuggulawo amaduuka gaabwe mu kulaga obutali bumativu bwabwe eri gavumenti olw’okubalemeza ku muggalo.
“Abasuubuzi mwenna mujje muggule amaduuka gaamwe nga bwetugoberera ebiragiro bya gavumenti,” akamu ku bupapula obuliko ebigambo ‘ekimala kimala’ nga bwagabiddwa aba Kacita bwekagamba.
Wiiki ewedde aba Kacita baawadde gavumenti ennaku ttaano okuggula ebizimbe mu Kampala oluvannyuma lw’emyezi ena nga bali ku muggalo.
Evaristo Kayondo, akulira Kacita yategeezezza nti ekibakozesezza kino ye gavumenti okugaana okuwuliriza omulanga gwabwe.
Yagambye nti gavumenti yalambula ebizimbe mu Kampala okulaba oba birina ebisaanyizo ebyetaagisa okwewala obulwadde bwa coronavirus kyokka nga nabuli kati bakyagaanye okubiggula.
Ono agamba nti bakolaganidde wamu ne bannanyini bizimbe okulaba nga bassa mu nkola ebiragiro bya gavumenti byonna.
Mu biragiro mulimu okulaba nti ebizimbe bitukula buli kadde wamu n’okujja ebintu byonna mu nkuubo okusobozesa okukendeeza ku mujjuzo.
Gavumenti era eyagala ebizimbe bino by’ongere ku kitangaala ekitali kyamataala wamu n’okuba n’abantu ku miryango abakebera ebbugumu ly’abayingira.
KCCA era eyagala ebizimbe bino biteekebwemu kamera ku myaliiro gyonna wamu n’okubeerawo naakasenge mwebasobola okussa abantu abateeberezebwa okuba n’ekirwadde kya coronavirus.
Gavumenti era eyagala buli ayingira ekizimbe okubeera ne mask wamu n’okwewa amabanga.
Kyokka bano Poliisi ebalabudde n’egamba nti bagenda kukola ku muntu yenna anaakwatibwa nga agezaako okuggula ekizimbe nga gavumenti temukkirizza.
Ayogerera Poliisi ya Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango, yategeezezza nti beetegefu okufaafaagana n’omuntu yenna anagezaako okuziimuula ebiragiro ku COVID-19.