
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi etegeezezza nti abantu abawera 6 be bafiiridde mu kubwatuka kwa bbomu okuli eyategeddwa okuliraana ekizimbe kya Jubilee ku Parliamentary Avenue ne poliisi ya CPS mu Kampala ku Lwokubiri.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga agambye nti okunoonyereza kwe bakoze kulaga nti ku bantu bano, 3 babadde batujju era be beetulisirizzaako bbomu.
“Kkamera zaffe eza CCTV eziriraanye poliisi ya CPS, ziraga omusajja ayambadde ebiddugavu ng’aweekedde ensawo ku mugongo ng’ategulula bbomu. Ono yafiiriddewo ate ababadde bamuliraanye ne baddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.” Enanga bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Enanga, ate okubwatuka okubadde ku kizimbe kya Jubilee kwakoleddwa abavubuka abaabadde batambulira ku boodabooda.
Era ono akakasizza nti bbomu zombi ziteguluddwa mu ddakiika ssatu zokka.
Enanga agasseeko nti abantu abasoba mu 33 be baaddusiddwa mu ddwaliro nga ku bano bataano emagombe baakusimbayo kitooke.
Obutambi
Obutambi obwakwatiddwa bulaga omutujju ng’ategulula bbomu ku poliisi ya CPS wakati w’emmotoka za poliisi bbiri ezibadde zisimbiddwa okuliraana ekkubo.
Ate obwakwatiddwa ku kizimbe kya Jubilee Insurance, bulaga abasajja babiri ababadde batambulira ku boodabooda nga bategulula bbomu zino.
Enanga agamba nti waliwo omutujju omulala ab’ebyokwerinda gwe bagobye ne bamukwatira e Bwaise era bano bagendeddewo mu makage e Nansana- Katooke gye bazudde bbomu endala eyambalibwa.
Okusinziira ku Enanga, ebiriwo biraga nti abatujju bano bakyaliwo mu ggwanga era beetegefu okuddamu okukola ennumba ez’enjawulo n’abasaba okukolagana ne poliisi nga baliko ekintu oba omuntu gwe beekengedde.









