
Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’ebyokwerinda mu Kampala bagamba nti bazudde ebyeyambisibwa okukola bbomu e Nabweru ku njegoyego za Kampala mu bikwekweto bye baliko okuzuula abatujju abakozesebwa aba Allied Democratic Forces(ADF) mu ggwanga.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande, Fred Enanga agambye nti oluvannyuma lwa bbomu ez’emirundi ebiri okubalukira mu Kampala ku CPS ne Parliamentary Avenue, bazze bakola ebikwekweto okuzuula abakolagana ne ADF mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Enanga agamba nti Ssabbiiti ewedde baliko amaka g’omu ku bateeberezebwa ge baalumbye e Nabweru ne basangayo ebikozesebwa okukola bbomu.
“Nga bwe twongera okufufuggaza aba ADF abaagala okwongera okulumya bannayuganda, twazudde ebyeyambisibwa okukola bbomu omuli n’emisipi awamu ne Jaketi ezeeyambisibwa okwetulisizaako bbomu e Nabweru.” Enanga bw’agambye.
Enanga agamba ebikwekweto bino bigendereddwamu okunoonya abo ababadde bakolagana ne ADF eyasooka okuwamba abantu ng’eyagala ssente wabula kati yadda mu kukola butujju n’okutabangula emirembe gya bannayuganda.
Okusinziira ku Enanga, okuziyiza obutujju kye kimu kati ab’ebyokwerinda kye basinze okuteekako essira era agamba nti abamu ku bantu abakolagana n’abatujju bano baafulumye dda mu kibuga nga beekwese mu byalo naye n’ategeeza nti bagenda kukwatibwa akadde konna.
Bino we bijjidde ng’ebitongole by’amawulire eby’ensi yonna bimaze okufulumya amawulire agalaga nga gavumenti ya Congo bwe yamaze edda okukkiriza Uganda okuyingira munda mu ggwanga eryo okusobola okufufuggaza abatujju ba ADF.









