• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Poliisi eyungudde abawanvu n’abampi okukuuma Abalamazi e Namugongo

Gambuuze by Gambuuze
May 31, 2022
in Amawulire
0 0
0
Poliisi eyungudde abawanvu n’abampi okukuuma Abalamazi e Namugongo
0
SHARES
44
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti bakwataganye n’ebitongole bye byokwerinda ebirala okukuuma abantu n’ebyabwe mu nnaku eziddirira olwa 3, June, 2022 awamu neku  Lwokutaano nga eggwanga lijukira okuttibwa kw’Abajulizi.

Olunaku lw’Abajulizi olw’omwaka guno lusuubirwa okubaamu abantu abawerera ddala oluvannyuma lw’eggwanga okuva ku muggalo gw’emyaka 2 nga bagenda kukung’aanira mu bifo 4, okuli ekiggwa ky’ Abakatoliki e Namugongo,  e Nakiyanja  mu bakulisitaayo awamu ne  Mamra Prayer Centre ewa Fr. Kibuuka ate neku kiggwa ky’ abasiraamu e Namugongo.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Enanga  ategeezezza nti tebalina kwekengera wadde okulabula kwebafunye  ku bantu abayinza okwagala okulumbagana abalamazi wadde embeera eriwo mu ggwanga tenabeera ntebenkevu nnyo.

“Basajja baffe bali mu bifo byonna ebina era buli lukya bongera okwetegekera embeera yonna eyinza okubalukawo okutaataaganya ebikujjuko bino,” Enanga bwe yagambye.

Enanga yannyonnyodde nti bamaze dda okuzingako ebifo byonna ebiyinza okweyambisibwa abaagala okutabula ebikujjuko bino nasaba abantu okubatuukirira nga balina omuntu yenna gwebekengedde kuba balina abawanvu n’abampi, kadenge, Pikipiki awamu ne kkamera eziwera okunyweza eby’okwerinda mu kitundu kino.

Ono yagasseeko nti obwengula bwa Namugongo bugenda kulondoolwa eggye ly’omubanga nga likolagana ne poliisi  bwatyo nasaba abagenda okwetaba mu kulamaga ku mulundi guno okubeera obulindaala n’okwekengera ekintu kyonna kyebaba batategeera.

Enanga abalamazi abasabye okutambula n’ebibogerako beewale okutaataaganyizibwa. Abasabye okwekeneenya embeera y’obulamu bwabwe nabawa amagezi baleme kwebonereza kisusse nga bagaana okulya, okunywa n’okuyimirira ekiseera ekiwanvu wamu n’okubeera mu mugotteko gw’abantu kuba byabulabe eri obulamu bwabwe.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Martyrs Day CelebrationsNamugongo ShrineUpdf
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist