
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi mu ggwanga etegeezezza nti eyise taata w’abadde Sipiika Jacob Oulanyah, Nathan Okori, Pulezidenti w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu n’amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda bannyonnyole ku byebatambuza nti Sipiika Jacob Oulanyah yaweebwa obutwa.
“ Tubayise bannyonnyole ekyatta omugenzi kuba bo bagamba nti bwali butwa era twagala bakole sitatimenti era n’okubasoya ebibuuzo . Bano kuliko Godfrey Kiwanda Ssuubi, Chris Baryomunsi, Hon. Gilbert Olanya, Hon. Santa Okot, Hon Kyagulanyi Ssentamu Robert, mzee Nathan Okori n’omuyimbi Bosmic Otim,”bwatyo omwogezi wa poliisi Fred Enanga bw’ategeezezza bannamawulire ku Mmande.
Olukalala luno era luliko abakulembeze b’ennono mu Acholi awamu nabakola amawulire ku mutimbagano.
Bweyali ayogerako eri abakungubazi ku mukolo gw’okuziika mutabani we, Nathan Okori yategeeza nti mutabani we yaweebwa obutwa obwakosa obulamu bwe era weyatwalirwa ebweru yali takyasobola kuwona.
Ate ye Kiwanda bweyali ku leediyo emu mu Kampala yagamba nti Oulanyah yali yamutegeeza nti yaweebwa obutwa nga yakamala okulondebwa ku bwasipiika omwaka oguwedde.
Wabula omwogezi wa poliisi agamba nti alipoota zebafunye okuva e Germany ne Amerika Oulanyah gyeyali yatwalibwa teziraga butwa bwonna era zikakasa nti okufa kwa Oulanyah kwava ku bitundu bye eby’enkizo okulemererwa nga Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng bw’ ategeezezza.
Okusinziira ku Enanga abayitiddwa balina okuwa poliisi obujulizi obukakasa ebigambo byabwe ebiwakanya alipoota z’abasawo abakugu.
Enanga agamba nti eri ababaka, ebbaluwa ezibayita zigenda kuyisibwa mu Sipiika wa Palamenti ajja okuzibatuusaako.
Kiddiridde Pulezidenti Yoweri Museveni okuvaayo nalagira poliisi okukwata omuntu yenna agamba nti Oulanyah yaweebwa obutwa bagiyambeko okunoonyereza okusobola okuzuula ekituufu ku nsonga zino.









