Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi ya Uganda egenze mu kkooti okutandika ku kaweefube w’okufuna olukkusa okuziikula omulambo gwa Frank Kalibbala Ssenteza abadde omukuumi w’alina bbendera ya National Unity Platform (NUP) ku bwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Ssenteza yafiiridde mu kabenje e Busega olunaku lw’eggulo wabula ng’aba NUP nga bakulembeddwamu Bobi Wine balumiriza emmotoka y’amagye okumukoona wadde nga poliisi egamba nti ono yagudde wansi bwe yabadde abuuka ku mmotoka kwe yabadde okudda ku ndala ng’etambula.
Olwaleero ku Mmande Ssenteza aziikiddwa e Masaka wakati mu miranga n’ebiwoobe wabula kati poliisi eyagala kuziikulayo mulambo gwe singa kkooti ebawa olukkusa.
Mu kiwandiiko ky’efulumizza, poliisi etegeezezza nti bannakibiina kya NUP baalemesezza abasawo baayo okwekebejja omulambo okufuna ekituufu.
“Nga ekitundu ku kunoonyereza ku nfa ya Frank Ssenteza abadde omukuumi wa Robert Kyagulanyi, ttiimu yaffe esanze okusoomoozebwa oluvannyuma lw’omulambo gwa Ssenteza okuziikibwa ku luguudo lwe Villa nga poliisi teyeekebezze mulambo,” Ekiwandiiko ekivudde mu poliisi bwe kisomye.
“Eggulo nga 27/12/2020, eddwaliro lye Lubaga lyawaddewo alipoota ekwata ku nfa y’omugenzi eri abooluganda ne bannakibiina kya NUP okubitwala e Mulago, basobole okuzuula ekyamusse. Ebyembi bano baagenze bugenzi ku kitebe kyabwe e Kamwokya we baakumye olumbe oluvannyuma omulambo ne gutwalibwa ku butaka okuziikibwa.” Ekiwandiiko bwe kiraze.
“Twayogerezeganyizza n’abenganda okuli Maj.Gen Elly Kayanja ne batuwa olukkusa okukebera omulambo e Masaka. Abakugu baffe ne balinnya ennyonyi okusobola okutuuka e Masaka mu budde beekebejje omulambo n’abasawo bafamire okuzuula ekituufu ekyamusse wamu n’ebisago bye yafunye,” Poliisi bw’erumiriza.
Poliisi egamba nti wadde famire y’omugenzi yabadde ekkiriza, bannakibiina kya NUP baagaanye ne babalemesa okukebera omulambo era ne bagenda mu maaso n’okuguziika.
Bano bagamba nti enneeyisa y’abawagizi ba NUP yabadde mbi era nga olw’ensonga batandise kaweefube w’okufuna ekiragiro kya kkooti ebakkirize okuziikula omugenzi bazuule ekituufu ekyamusse.
Poliisi egamba nti wano abakugu baayo bajja kuba bafunye omukisa okumaliriza okunoonyereza kwe/baliko mu nsonga eno .








