
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi evunaanyizibwa ku ntambula y’oku mazzi etegeezezza nti abantu bonna omwenda abaabadde basaabalira ku lyato eryagudde mu Nnyanja Nalubaale, baasimattuse era bategeka okuvunaana nannyini lyato lino.
Eryato lino libadde liva ku mwalo gwe Kasenyi mu bitundu bye Ntebe nga kyolekera ogwe Kisaaba, ekisangibwa mu gombolola ye Kyamuswa mu Kalangala.
Okusinziira ku poliisi akabenje wekabereddewo eryato lino lyabadde lyabadde lyakava ku mwalo gwe Lukuba okutwalayo abantu nébintu byabwe, kyeyongerayo ku mwalo gwe Kisaba mu Gombolola ye Kyamuswa mu district ye Kalangala gyekifunidde akabenje mu kiro.
Poliisi egamba nti kyabadde kimenya mateeka okukkiriza eryato lino okutambuza abantu obudde obw’ekiro.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa poliisi, obuzibu bwavudde ku Yingini z’eryato lino ezawagamidde mu butimba obwabadde butegeddwa mu nnyanja eno.
Poliisi egamba nti emu ku Yingini zino yagudde mu mazzi nga kyabadde kizibu eryato lino okweyongerayo, ekyaviiriddeko omuyaga okukuba eryato negulisuula ku mwalo e Lukuba.
Abakulu mu poliisi batangaazizza nti tewali muntu yenna afiiridde mu kabenje kano nga bwebibadde bitambuzibwa ku mitimbagano era Yingini bazisanze ziwagamidde mu butimba.
Ssentebe wa disitulikiti ye Kalangala Rajab Ssemakula ategezezza nti kibayambye nnyo okuba nti amawulire g’akabenje kano gaatuuse mu budde eri buli muntu akwatibwako, nebasitukiramu ne poliisi nebatandika omuyiggo oguyambye okutaasa abantu ababadde ku kinaala.
Poliisi y’oku mazzi ewadde abantu ennamba 0800300113 okukubako singa wabaawo akabenje kuba ekiseera kino omuyaga mungi ku nnyanja.









