Bya Musasi waffe
Poliisi ya Uganda ekutte neggalira omukulembeze w’ekisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine bwabadde aganda okwetaba mu lukungaana e Gayaza. Poliisi eyakedde kuyiwa abakazi n’abasajja baayo abawanvu n’abampi ku kisaawe kya Our Lady of Good Counsel e Gayaza okulemesa olukungaana luno. Mubalala abakwatiddwa ne batwalibwa ku poliisi y’e Kasangati kuliko Omubaka wa palamenti akiikirira ekibuga ky’e Bugiri Asuman Basalirwa, Omubaka wa Kawempe ey’omumambuka Latif Ssebaggala wamu Meeya wa Kasangati Town Council Tony Ssempebwa n’abalala. Olwaleero, Bobi Wine abadde agenda kutandika enteekateekaye ey’okwebuuza ku Bannayuganda ku kwesimbaawo kwe okuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga mu kalulu ka bonna mu 2021. Poliisi bwetuuse ku kisaawe kino, ewambye emizindaalo egibadde gitandise okussibwa mu kitundu kino wamu n’okugobawo abavubuka ababadde batandise okukungaana nga bambadde obukoofiira obumyufu amagye ge bwawera.
Poliisi etegeezezza nti Kyagulanyi teyaweebwa lukusa kukuba nkugaana nnene nga luno mu bisaawe wabula entonotono mu bisenge ebiteesezebwamu nga mu wooteeri.
Ayogerera People Power Joel Ssenyonyi, ategeezezza nti bbo tebannafuna buwandiike bwonna okuva eri poliisi okulaga nti olukungaana luyimiriziddwa. Agambye bbo balusuubira okutandika ku ssaawa nnya ez’enkya ya leero.
Mu nteekateeka ya Kyagulanyi bwanaava e Kyaddondo wa kugenda mu mambuka ga Uganda nga wabula neeno, ayinza obutanguyirwa. Wosomera bino nga wooteeri emu e Kitgum gyabadde asuubirwa okutegekera olukungaana lwe, eby’okumukyaza babyesambye nga bagamba ab’ebyokwerinda be babalagidde.