Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’ebyokwerinda balemesezza olukung’aana olubadde olw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’omudumu gw’ amafuta (East African Crude Oil Pipeline -EACOP) omubadde mulina okwogerera Dr. Kizza Besigye awamu ne Robert Kyagulanyi Ssentamu nga egamba nti lubadde mu bukyamu.
Ensisinkano eno ebadde erina kubeera mu Emerald Hotel e Wandegeya mu Kampala nga lubadde lwategekeddwa aba African initiative on food security and environment (AIFE-Uganda), n’ekigendererwa ky’okubangula bannansi ku nsonga z’enkyukakyuka y’embeera y’obudde.
Okusooka aba AIFE basoose kulumiriza nga bweyabadde etandise okutiisatiisa abamu ku bakozi babwe ate nga buli kimu bakikoze mu mateeka.
“Tuvumirira ekya Poliisi okutiisatiisa ababadde abategesi. Olukung’aana luno lubadde mu mateeka. Tulina eddembe okuwa endowooza zaffe,” ekiwandiiko okuva mu ba AIFE bwekisomye.
Olunaku okutegekeddwa olukung’aana luno lukwataganye ne Pulezidenti Yoweri Museveni kw’alina okutongoleza omulimu gw’okutandika okusima amafuta e Buliisa ku luzzi lw’ amafuta olwa Kingfisher.