Bya Ssemakula John
Kampala
Ekiwayi mu poliisi y’eggwanga ekikola ku kunoonyereza kyegaanye okumanya ebikwata ku bantu musanvu abagambibwa okutwalibwa ab’ebyokwerinda wakati ng’eggwanga ligenda okukuba akalulu ka 2021.
Abantu bano bebamu ku 66 abaalabikira ku lukalala lw’akakiiko ka Palamenti akakola u ddembe ly’obuntu mu March w’omwaka guno era ababaka nebateeka gavumenti ku nninga ennyonnyole gyebakuumirwa awamu n’embeera mwebali.
Ku bano kuliko; George Kasumba, Agnes Nabwera, Sarah Nanyanzi, Mathew Kigozi, Mathew Kafeero Ibrahim Chekedi ne John Damulira.
Kigambibwa nti bano bakwatibwa ab’ebyokwerinda okuva mu bitundu bye Kampala, Mukono ne Masaka mu kiseera ky’ okunoonya akalulu mu 2020.
Akulira ebyamateeka mu poliisi, Erasmus Twaruhukwa ategeezezza nti tewali musango gwonna gwaloopwa ku kubulawo kw’abantu bano naye ekitongole kyabwe ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kyatandikirawo okunoonyereza nga bafunye amannya gabwe naye tewali kyamanyi kyebaali bafunye.
Twaruhukwa agamba nti ebimu ku byaweebwayo abaali beemulugunya nga muno mulimu endagiriro za bano, ebifo webabawambira byali tebimala era bwekutyo okunoonyereza ku wa gyebabulira nekufuuka okuzibu.
Kinajjukirwa nti wiiki ewedde, akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Palamenti kateeka abakulu ku nninga bannyonnyole ani avunaanyizibwa ku mmotoka ‘Drone’ ezigambibwa okweyambisibwa abawamba abantu mu kiseera ky’akalulu kuba kyazuuliddwa nti bano baali bakolagana butereevu neggye lya UPDF n’ekitongole ky’ amakomera.
Wabula Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Jacob Oboth-Oboth, yegaanye ebyabadde boogerwa ababaka nti abakozesa ‘Drone’ balina akakwate ku kitongole ky’amagye ekikessi ekimanyiddwa nga ‘Chieftaincy of Military Intelligence (CMI)’.
Mu March w’omwaka guno akakiiko ka Palamenti akaali kakuliddwa Fox Odoi, kalagira Minisita w’ebyokwerinda eyaliko, Jim Muhwezi oluleeta abantu 7 abali babuzibwawo mu mwaka 2020 kuba baalina eddembe nga bannayuganda okubeera abalamu n’ensi okumanya amayitire gaabwe, bweyali annonnyola Muhwezi yategeeza nga gavumenti bweri mu kunoonyereza ku nsonga eno.
Era March nga 4, 2021, Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Jeje Odongo yafulumya olukalala lwa bantu 177 abaali batwalibwa ab’ebyokwerinda okuva mu bitundu ebyenjawuko wabula ono aba NUP bavaayo nebategeeza nti abawambibwa baali bangi okusingako awo era nebaleeta olukalala lwa bantu 680 abaali babuziddwawo.