• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Uncategorized

Poliisi ereese ebiragiro ebikambwe ku bbaasi ne boodabooda okukendeeza obubenje

Gambuuze by Gambuuze
January 9, 2023
in Uncategorized
0 0
0
Poliisi ereese ebiragiro ebikambwe ku bbaasi ne boodabooda okukendeeza obubenje
0
SHARES
15
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala

Abakulira Poliisi y’ebidduka mu ggwanga baleese ebiragiro ebijja okuyambako okukendeeza obubenje obuyitiridde okutwala obulamu bw’abantu.

Bino byogeddwa omwogezi wa poliisi y’ebidduka, Faridah Nampiima mu lukung’aana lwa bannamawulire olutuula e Naguru buli Mmande.

Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Faridah Nampiima agamba nti bakomezzaawo enkola ya baddereeva ba bbaasi okubeera nga basooka ku kakasibwa minisitule y’ebyenguudo n’ebyentambula okuvuga bbaasi zino.

Nampiima ategeezezza nti Minisitule ejja kuwa omuvuzi akakasiddwa ‘Badge’ emukakasa ng’ eno gyajja okugatta ku Pamiti ye kuba wabaddewo abasaabaza abantu naye nga tebalina bukugu.

Badge zirina okutimbibwa mu bbaasi abantu basobole okumanya abavuga n’okumulondoola singa agezaako okukola ebiteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Bannanyini kampuni za bbaasi zino era bakuwangayo ebikwata ku baddereeva bano era nga bino byonna bakubikola mu bbanga lya wiiki emu yokka.

Akulira ekibiina ekitaba abavuzi ba bbaasi mu ggwanga, Hannington Kiwanuka enteekateeka eno agiwagidde nategeeza nti poliisi yalwawo dda kuba ejja kuyamba okuteekamu baddereeva obuvunaanyizibwa.

Ye akulira ekibiina ekiyambako okukendeeza obubenje ku nguudo ki Uganda Road Accidents Reduction Network Organisation (URARNO), Cuthbert  Isingoma annyonnyodde nti obunafu buli ku bayigiriza abantu emmotoka kuba essira baliteeka ku misana olwo ekiro abayiga emmotoka nebakweyigiriza.

Ono asabye minisitule eyongere amanyi n’okussa akazito ku bayigiriza abantu okuvuga emmotoka baleme kuyigiriza bantu mmotoka wiiki bbiri olwo nebagenda ku luguudo okuvuga ate nga wabaawo bingi byebaba tebamanyi.

Poliisi era eragidde aba boodabooda okwambala obujaketi obwaaka era bafube okutambula n’ebiwandiiko ebyogera ku Pikipiki zabwe akadde konna.

Poliisi era egamba bukya omwezi guno gutandika (1-8, January, 2023) obubenje 340 bwebwakabaawo nga bubaddemu abantu 324, ku bano 79 baafa ate 245 nebabuukawo n’ebisago.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist