
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi erabudde omuntu yenna atagese okwerayiza, okwetabamu oba okulaga amawulire agalaga omuntu omulala yenna nga yeerayiza nti ajja kuba alidde mu nsi olukwe. Leero, omwogezi wa poliisi Fred Enanga ategeezezza olukiiko lwa bannamawulire olutudde e Nagulu nti bafunye amawulire ng’abamu ku baavuganya mu kalulu kaggwa, bwe bategese okwerayiza.
“Tufunye amawulire okuva mu bakessi baffe nga omu ku baavuganya bwategese omukolo gw’okwerayiza ogw’enjawulo mu wooteeri emu e Iganga. Tulina olukalala lw’abaavuganya ne bagaana okukkiriza ebyava mu kalulu nga bagamba nti, be baawangula akalulu. Naye twagala okubajjukiza n’abawagizi baabwe nti, bino bimenya mateeka.” Enanga bw’agambye.
Bino we bijjidde nga Pulezidenti Museveni agenda kulayizibwa ku Lwokusatu ku kisanja kye ekyomukaaga oluvannyuma lw’okuwangula akalulu n’ebitundu 58 ku buli 100.
Mu mwaka gwa 2016, eyali Pulezidenti wa Forum for Democratic Change, Dr. Kizza Besigye eyali avuganyizza mu kalulu yeerayiza nga Pulezidenti omulonde era n’akwatibwa n’aggalirwa e Karamoja. Enanga agamba nti bano ne bwe balemerako ne balayira, bajja kukoma ku kimu kya kukola mukolo era byakumala budde.
Omuntu yenna, emikutu gy’amawulire, ab’ekitongole ekiramuzi oba omuntu yenna eyeetaba mu bikolwa bino, ajja kuvunaanibwa ogw’okulya mu nsi olukwe.
Afande Enanga annyonnyodde nti kano ke kaseera abaavuganya bazannye ebyobufuzi eby’ekikulu, bakkirize ebyava mu kalulu era bagoberere amateeka kye gagamba, bave mu by’okuzannya obuzannyo.
Ono alaze nti bano abaagala okwerayiza, baagala kimu bantu ku boogerako naye temuli makulu. Okusinziira ku Enanga, ebitongole byonna eby’ebyokwerinda bimaze okwetegeka okulaba nga bikola ku yenna ayinza okwagala okutabula emikolo gino.
Gye buvuddeko, akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, yavaayo n’alaga nti Pulezidenti Museveni okulayira, tekijja kumulemesa kulwanirira bannayuganda.









