Musasi waffe
Poliisi mu Kampala erabudde abagoba ba boda boda obutagezaako kulumba maka g’omukulembeze w’eggwanga nga bwebateeseteese singa tebakkirizibwa kuddamu kukola.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe ky’essengejjero ly’amawulire ga gavumenti, Patrick Onyango omwogezi wa Poliisi ya Kampala n’emirirwano yategeezezza nti singa aba boda boda baagala gavumenti eddemu okubakkiriza okutikka abantu wamu n’okukola okusukka essaawa ekkumi n’emu, balina kuteeseganya so si sikwekalakaasa.
“Twakitegeddeko nti aba boda boda abasukka 5000 bagenda kwekunga balumbe State House, naye tubalabula nti tetujja kufunya mikono nga tubalaba bamenya amateeka. Tuli beetegefu okukuuma ekibuga kino wamu n’eggwanga lyonna,” Onyango bweyategeezezza.
Ono yayongeddeko nti era waliwo n’aba boda boda abalala abatandise okulumba eb’ebitongole by’ebyokwerinda.
Yawadde eky’okulabirako eggulo aba boda boda 80 bwebaagezezzaako okulumba abasirikale abali mu Lubigi.
Abasirikale baakubye amasasi mu bbanga era baasobodde okukwatako aba boda boda bana wamu ne pikipiki zaabwe ng’era kati bakuumibwa ku Poliisi ya Kampala Mukadde.