
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Poliisi ekola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekutte omusajja agambibwa okulabikira mu katambi akaasasaanira omutimbagano nga aliko omusajja omulala eyali asibiddwa akandooya gwayokya ekidomola.
Okusinziira ku katambi kano omu ku basajja eyali atonyeza munne ebidomola yali yeetimbye essaati y’ekibiina kya NRM. Kitegeerekese nti omusajja abonyabonyezebwa mu katambi ye Brian Njuba nga wa myaka 40 ng’akola mazzi era baamulimbalimba nti abaagala okumuwa omulimu.
Poliisi egamba nti Njuba nga mutuuze w’e Lungujja yalimbwalimbibwa n’agenda mu wooteri emu e Ggaba ng’eno gyebamukwatira nebamusibisa Ssengenge n’okutandika okumwokya.
Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga ategeezezza nti nga bakozesa obukodyo obw’enjawulo basobodde okugendayo nebamutaasa era nebakwata Abdurahman Wejule omu ku balabikira mu butambi.
“Ono y’omu ku babadde emabega wa katambi kano. Twakozeseza obukodyo bwaffe obw’omulembe netumulondoola okuva e Lugazi. Bwetwakebedde ennyumba ye, twasanzeeyo layini ye ssimu n’ essaati eriko ebigamba bya NRM erabikira mu katambi,” Enanga bw’agambye.
Enanga annyonnyodde nti mukikwekweto kino bakutte ne Mastullah Namaganda ng’ono akola ku mmeeza etuukirwako ku wooteri eno, okusobola okubaako byatangaaza ku kituufu ekyabaddewo. Ono ekyamukwasizza kwekuba nti yeyawandiise abantu bano era nakkiriza bakozesa essimu ye okukubira Njuba naava e Lungujja gyeyabadde era bweyatuuse namulagirira mu kisenge gyebabadde bamulindidde.
Poliisi egamba nti baakukola kyonna okukwata abalala abasigaddeyo okulaba nti wabaawo obw’enkanya ku njuyi yonna.









