
Poliisi mu Kampala ekutte boda boda 291 lwakujeemera biragiro by’omukulembeze w’eggwanga.
Kulw’okusatu, Museveni yawera boda boda okutambula nga zisusse essaawa munaana ez’emisana.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeezezza nti bano bajjiddwa mu bitundu by’e Kampala n’emirirwano.
Enanga yagambye nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso ng’abassa ekiragiro kya Museveni mu nkola.
“Buli boda boda gyetukwata, tugenda kulwawo okugibaddiza kubanga bajja kuddamu okuzikozesa mu kumenya amateeka,” Enanga bweyagambye.
Museveni ayisizza ebiragiro ebye’njawulo ebisukka mu 33 okusobola okutangira ensaasaana ya kawuka ka Coronavirus.









