Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde yeefuula omusawo okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago n’ekigendererwa kyokunyaga abalwadde mu ddwaliro e Kawempe.
Acleo Byamukama yakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa poliisi y’e Kawempe ng’eri wamu n’akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga akakulirwa munnamagye Col Edith Nakalema.
Ono yakwatiddwa oluvannyuma lw’okulondoola essimuye gyabadde akozesa okufera abantu.
Ono mukukwatibwa, yasaangiddwa n’empapula z’eddwaliro ezibadde ziraga nti abadde asisinkana abalwadde mu zi woodi wamu n’okubawandiikira ebibaluma saako eddagala ery’etaagibwa.
Ono era asangiddwa n’endagamuntu ez’enjawulo ezibadde ziraga nti ye Dr Acleo Byamukama.
Omu kubakuumi b’eddwaliro e Kawempe yategeezezza URN nti Byamukama y’omu kubafere eb’enjawulo abanyaga abantu ku ddwaliro lino naddala abo abava bwabweru wa Kampala.
“Bwabadde ayingira mu ddwaliro wano atweyanjulidde ng’omusawo naye kitwewunyisizza okusanga empapulaze wamu n’endagamuntu nga bijingirire,” Omukuumu ataayagadde kumwatuukiriza linnya bwategeezezza.
Byamukama akyakuumibwa ku kitebe kyabambega e Kibuli ng’okunonyereza kugenda mumaaso okuzuula baani baabadde akola nabo.
Gyebuvuddeko Poliisi era yakwata omusajja omulala amanyiddwa nga
Ashraf Agaba naye eyali yeeyita omusawo mu ddwaliro e Kawempe.
URN