
Poliisi mu disitulikiti y’e Masindi bali mu kunoonyereza ku butya, omukozi gyeyattiddwamu mu maka g’omubaka w’essaza ly’e Buruli Zerubabel Nyiira Mijumbi.
John Mbabazi ow’emyaka 32 yeyattiddwa mu maka ga Mijumbi agasangibwa ku kyalo Kinuba mu muluka gw’e Bigando mu disitulikiti y’e Masindi.
Julius Hakiza, ayogerera Poliisi y’ekitundu Albertine yategeezezza nti abalumbaganyi baatemyetemye omugenzi oluvannyuma omulambo gwe, nebaguwanika ku muguwa.
Okusinziira ku Hakiza abatuuze baalinze omugenzi yeggulire naye nga buteerere ekyabaviiriddeko okutemya ku poliisi.
Tekinnasoboka kwogerako ne Mijumbi kubanga abadde takwata ssimu ezimukubirwa.
URN