Bya Ssemakula John
Ssentebe w’ Akakiiko ka Palamenti ak’ebyobulamu, Dr. Charles Ayume agumizza abasawo mukitundu kye buvanjuba bw’eggwanga nti omusaala gwabwe gugenda kwongezebwa nga 01 July 2022 terunayita.
“Palamenti yayisizza embalirira y’omwaka 2022/2023 nga mulimu ssente ezongeza omusaala gw’abasawo,” Ayume bwe yagambye.
Bino Ayume yabyogeredde Bukedi ku Lwokubiri bweyabadde akulembeddemu akakiiko kano okwekeneenya empeereza y’ebyobulamu bweyimiridde mukitundu kino
Ayume yasiimye abasawo olw’okusigala nga bajjanjaba abantu wakati nga waliwo okwekalakaasa okwalangirirwa ekibiiina ekibatwala ki Allied Health Professionals nga kiwakanya emisaala emitono gyebafuna.
Akulira eby’obulamu e Budaka, Erisa Mulwani yategeezezza ababaka bano nga embeera bweyandibadde enzibu ennyo singa abasawo mukitundu kino basalawo okwegatta mu kwekalakaasa kuno.
Ye atwala eddwaliro lya Budaka Health Centre IV, Dr. Winfred Mutaki yeemulugunyizza ku muwendo gw’ abasawo abatono be balina nga abakozi be balina be balowoozebwako emyaka 20 emabega kyokka kati bingi ebikyuuse.
Dr. Mutaki agamba nti olw’okuba bali kumpi n’oluguudo lwa Tirinyi -Mbale bafuna nnyo abafunye obubenje kyokka tebalina bikozesebwa bimala nasaba wabeewo ekikolebwa.
Ababaka bano bwebatuuse ku Nsinze Health Centre IV mu disitulikiti ye Namutumba, omubaka wa Hoima City West, Joseph Ruyonga yeebazizza abakulira eddwaliro lino olw’omutindo n’okukuuma obuyonjo.
Ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyobulamu mukiseera kino bali mu buvanjuba bw’ eggwanga nga balambula amalwaliro ag’enjawulo omuli; Busesa Health Centre IV e Bugweri, Magada Health Centre III mu Namutumba, Kibuku Health Centre IV awamu ne Kasasira Health Centre agasangibwa mu disitulikiti ye Kibuku .