Bya Ssemakula John
Wakiso – Busiro
Omukazi w’olubuto ow’emyaka 20 asindikiddwa mu kkooti enkulu ku misango gy’okutemula bba eyali yakayimbulwa okuva mu kkomera.
Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako, Stella Maris Amabillis yasindise Neymar Fidali nga mutuuze we Kakindu Katabi bweyabadde amuvununira ekiwandiiko ekimusindika mu kkooti enkulu.
“Omusango gwo tegukyali mu mikobo gyange. Togenda kuddamu kuleetebwa mu kkooti eno okuwulira omusango guno, ojja kulinda otwalibwe mu kkooti enkulu e Kampala oba wano oba wonna awalisalibwawo,” omulamuzi Amabillis bw’annyonnyodde.
Fidali yali mukyala wa Tonny Mbaziira eyakwatibwa mu 2019 ku misango egimu naggalirwa.
Kigambibwa nti ekiseera Mbaziira weyabeerera mu kkomera, Fidali yafuna omusajja omulala eyategeerekeka nga Jonah nga wa Booda booda nebaagalana.
Oluvannyuma lw’akabanga, Mbaziira yayimbulwa naye nasanga nga Fidali yafuna omusajja omulala.
Bano baddamu okwagalana kyokka Fidali nasigala nga ayagalana nowa Booda.
Ku lunaku lwa August 26, 2022 yakomawo ewaka kyokka Fidali teyaliiwo wabula bweyamukubira essimu yamuddamu nti yali mu bbaala e Kawempe nowa Booda bwaba ayagala agendeyo amunone.
Mbaziira yagendayo namusanga nowa booda booda naye namuggyayo nebafuna Takisi okudda ewaka mu kiro ekyo.
Ku makya Fidali yazuukukira mu miranga nga agamba nti bba yali afunye obuzibu naye yali takyasobola kussa.
Ab’omuliraano bagenda okutuuka okulaba ekiriwo, basanga Mbaziira ali mu kitaba ky’omusaayi nga ayambaddeko kitundu.
Bano bayita poliisi eyajja nekakasa nti Mbaziira yali afudde era omulambo gwe negutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwekebejjebwa.
Ekiwandiiko kino ekisindiika Fidali mu kkooti enkulu kiraga nti mu maka gabano basangayo essaati eyali ebunye omusaayi, empale y’omunda nga ya mukyala n’essimu 2 ng’ebizibiti.
Omulambo gwa Mbaziira gwaliko ebiwundu mu kifuba awamu neku mugongo.
Ebyava mu kwekebejja omulambo byalaga nti Mbaziira yafa oluvannyuma lw’okuvaamu omusaayi omungi nga guva ku kiwundu ekyamanyi kyeyali afunye ku mutima.
Poliisi yatwala Fidali nakeberebwa omutwe era nekizuulibwa nti yali ategeera bulungi bweyali tanatwalibwa mu kkooti okuvunaanibwa emisango gino ejja Nnagomola.
Bw’abadde mu kkooti nga ali mu kiteteeyi ekya kiragala ekya mateneti, Fidali bw’abuuziddwa oba ebimusomeddwa abitegeera bulungi akkiriza.